Kyaddaki Poliisi ekutte omusajja ku misango gy’okutta muganzi we nga yakutte ekiso namusalako obulago.
Nicholas Ampereza myaka 40 nga mutuuze ku kyalo Kanyambeho mu ggoombolola y’e Nyakinoni mu disitulikiti y’e Kanungu, yakwattiddwa ku by’okutta Peace Namara myaka 27, abadde omukozi mu bbaala.
Kigambibwa Ampereza yafunye olugambo nti muganzi we, yafunye omusajja omulala, ategeera obulungi ensonga z’omu kisenge era nga essaawa yonna, agenda kumwanjula eri abazadde.
Abamu ku abatuuze, bagamba nti akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku ssaawa nga 12, Ampereza yavudde mu mbeera, era amangu ddala yakutte ejjambiya, kwe kusala Namara obulago.
Abatuuze wadde bawulidde omulanga, webatuukidde okutaasa, nga Namara z’embuyaga ezikunta era yenna agudde mu kitaba ky’omusaayi.
Wabula Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, (Kigezi), agamba nti Ampereza akwattiddwa ku misango gy’okutta omuntu era atwaliddwa ku Poliisi y’e Kihihi.
Maate era agamba nti omugenzi atwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu erya kihihi health centre iv okwekebejjebwa nga n’ejjambiya, ezuuliddwa.