Poliisi ekutte omusajja myaka 60 ku misango gy’okusobya ku baana bana (4), abasangiddwa nga bali mu kwetekateeka okudda ku massomero wiiki ejja.
Ssedduvuto Fred Mutesasira nga mutuuze ku kyalo Saluti A cell mu Monicipaali y’e Kasese, mu disitulikiti y’e Kasese yakwattiddwa ku by’okusobya ku baana basatu (3), wakati w’emyaka 3 – 8.
Kigambibwa, yasobodde okweyambisa ebintu by’omudduka omuli swiiti, okusendasenda abaana okubasobyako.
Omu ku bazadde, agamba nti omwana we myaka 6 yabadde akaaba nnyo era yagenze okumwekebejje, ng’akulukuta omusaayi mu bitundu by’ekyama ssaako n’amazzi g’ekisajja, era amangu ddala yategeezeddwa nti yasobezeddwako.
Omu ku baana, eyasobodde okusangiriza Mutesasira ng’asobya ku mwana, agamba nti, weyatuukidde mu kisenge, yasanze Mutesasira ali bukunya nga n’omwana amutuuzizza ku bisambi.
Ate Zainabu Asiimwe, omu ku basirikale abatwala emisango mu kkooti, agamba nti okusobya ku baana kweyongedde nnyo mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19 ng’abaana bali ku muggalo.
Zainabu agamba nti Poliisi efunye emisango 5 okuva mu biseera bya Ssekukulu, okutuusa olunnaku olwaleero.
Ate omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Ismail Kaawo agambye nti Mutesasira akwattiddwa era atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Kasese ku misango gy’okusobya ku baana abato.
Mungeri y’emu agamba nti essaawa yonna, abaana bakutwalibwa mu ddwaaliro okwekebejjebwa, okufuna alipoota y’omusawo.