Kyaddaki Omuzinyi amanyikiddwa nga 68, akwasiddwa ssente n’ebirabo, oluvanyuma lw’okuteeba oluyimba, namba 1 kwezo 102 ezaazanyibwa, nga tumalako omwaka oguwedde ogwa 2021.

68 nga mutuuze we Lweza mu disitulikiti y’e Mukono, akawungeezi ka leero, wano ku kitebe kya 100.2 Galaxy FM e Kansanga, akwasiddwa ssente 102,000, Jampa y’abazinnyi, T-shirt, era agamba nti omukwano gw’alina ku laadiyo eno, y’emu ku nsonga lwaki yawangudde.

68 y’omu ku bantu 90, abateeba akayimba Omwoyo olwa Liam Voice.

Eddoboozi lya 68

Ate DJ Herbert, akulira ebya muziki era akulira ebifulumira ku mpewo, wano ku 100.2 Galaxy FM, ayogedde ku kya 68 okuwangula.

Eddoboozi lya Herbert

Newankubadde abawanguzi baali 90, abateeba akayimba ku nnamba emu (1), DJ Herbert, alambuludde lwaki 68 yekka yakwasiddwa ssente.

Eddoboozi lya Herbert

68 wadde asiimiddwa n’okuweebwa ensimbi, ne Lucky Sheilah, eyali omu ku bateeba, naye tavirideemu awo, Kompyuta, y’omu ku bantu 2 beyawandudde okufuna ku birabo.

Prim ne Lucky

Olunnaku olwaleero, akwasiddwa Jampa y’abazinnyi ssaako ne T-shirt.

Eddoboozi lya Lucky