Poliisi ekoze ekikwekweeto, mwekwatidde abantu 40, abateeberezebwa okwenyigira mu kutigomya abatuuze ssaako n’abasabaze ku Northern bypass mu Kampala.

Deus Ssava, agamba nti muganda we Merdad Mutebi eyali avuga bodaboda, yattiddwa omwezi oguwedde ogwa December 2021, nga yakubiddwa bwe yabadde ku Northern bypass ne batwala Pikipiki ye okumpi ne nkulugo y’e Busega.

Ssava agamba nti ababbi beyongedde nga tebaliko budde, nga beyambisa ebissi ebyenjawulo omuli ennyondo era abantu bangi nnyo, batwaliddwako ebintu byabwe.

Eddoboozi lya Ssava

Amaziga g’abatuuze ssaako n’abatambuze, y’emu ku nsonga lwaki Poliisi evuddeyo era mu kikwekweeto ekikoleddwa 40 bakwattiddwa.

40 bagiddwa ku ttaawo e Kyebando, Kamwokya Kyamuka n’ebitundu ebirala era okusinzira kw’amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, okunoonyereza kukyagenda mu maaso, kwe kusaba abatuuze okweyambisa ebitongole ebikuuma ddembe ku nsonga bwezityo okusinga okusirika.

Owoyesigyire era agamba nti abakwate mwe muli abakulembeze omuli Payike Ashraf, Yasin, Shakim ne Muzafaru abagambibwa okulemberamu ababbi abatigomya abantu nga banyakula amassimu, ensawo n’okukuba abantu, ekivuddeko abamu okufa.