Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform – NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) agiddwako emisango gy’okuyingira ku Yunivasite e Makerere mu ngeri emenya amateeka.

Kinnajjukirwa nti munnamateeka Male Mabirizi, yaddukira mu kkooti ya LDC mu Kampala ng’awakanya, obuyigirize bwa Kyagulanyi ssaako n’engeri gye yayingira ku Yunivasite y’e Makerere, okusoma mu nsoma ey’abakulu.

Kyagulanyi yatikkirwa ku yunivaasite e Makerere emyaka egisukka 20, Dipulooma mu kuyimba, okuzina ne katemba ky’oyinza okuyita (Music, Dance and Drama-MDD) wabula Mabirizi yamutwala mu kkooti.

Mu kkooti, Mabirizi agamba nti tekisoboka kuba nga Kyagulanyi yaweebwa ekifo asome dipulooma ya MDD, nga 21, October, 2000 ku nteekateeka y’abakulu, nga yalina emyaka 20 gyokka mu kiseera ekyo.

Mu kkooti, 7, October, 2021, Mabirizi yagibwako omusango ne gutwalibwa offiisi y’omuwaabi wa Gavumenti.

Wabula okusinzira ku kiwandiiko ekiteekeddwako omukono, Ssaabawaabi wa Gavumenti Jane Frances Abodo, sibetegefu kweyongerayo n’omusango.

Ku kiwandiiko, ekyawandiikibwa nga 16, December, 2021 tewali nsonga yonna eweereddwa, lwaki omusango gugiddwawo.

Munnamateeka wa Kyagulanyi (Bobi Wine), Geoffrey Turyamusiima  agamba nti wadde omusango guyimiriziddwa, bazze mu kkooti enkya ya leero, nga betegese okuwuliriza omusango ogwo.

Munnamateeka Turyamusiima

Ate ne munnamateeka Male Mabirizi, asigadde si mumativu ku nsalawo, y’okuyimiriza omusango gwe.

Mabirizi agamba nti obujjulizi bwonna webuli obulaga nti Kyagulanyi alina omusango kyokka kyewunyisa Gavumenti, okuzannya akabadi ku nsonga za kkooti.

Munnamateeka Mabirizi

Ekiwandiiko ekiyimiriza omusango kireeteddwa oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Joy Apolot mu maaso g’omulamuzi Marion Ninsiima wabula munnamateeka Mabirizi akiwakanyiza.

Omulamuzi Ninsima ayongezaayo omusango okutuusa nga 14, omwezi ogujja Ogwokubiri, 2022, okulinda omulamuzi Augustine Alule okuwa ensala ku nsonga eyo.

Omusango okuyimirizibwa, kabonero akalaga nti Bobi Wine afunye obuwanguzi obusoose okuwangula omusango gwa munnamateeka Mabirizi ssaako n’okuwona ekkomera.

Mabirizi agamba nti Bobi Wine singa omusango gumusiinga, ayinza okusibwa emyaka 2-3.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=j0ued8rNcag