Poliisi mu ggwanga erya Zimbabwe ekutte omukyala omu ku basamba ogw’ensimbi ku misango gy’okusobya ku balenzi abato basatu (3) omulundi gumu.

Abalenzi, oluvanyuma lw’okulaba vidiyo z’obuseegu ku massimu gaabwe, bakaanyiza okwegata bagule malaaya.

Amangu ddala malaaya Sibanda myaka 27 yaguliddwa.

Malaaya Sibanda yakkiriza okubatwala mu nju ye, era yabalambuzza ebyalo okutuusa obudde okutya mu bitundu bye Emthunzini.

Wabula olunnaku olw’eggulo, omu ku balenzi yatwaliddwa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi nga yenna alumwa, ebitundu by’ekyama era okwekebejjebwa nga yafunye enziku.

Abazadde baatabukidde omulenzi era wadde yabadde mu ddwaaliro, yakubiddwa empi, okutuusa lwe yasobodde okutegeeza abazadde ku kyabaddewo.

Mu kiseera kino, malaaya ali mikono gya Poliisi ku misango gy’okusobya ku baana abato, wakati w’emyaka 16 – 17.

Ku Poliisi, malaaya agambye nti, abalenzi bazze nga balaga nti bantu bakulu nga ne mu kusinda omukwano, tewali kiraga nti balenzi bato, nga bategeera okutambula ekyuma.

Malaaya,  bw’atwaliddwa mu kkooti, omulamuzi Shepherd Mnjanja, amuyimbudde kakalu ka kkooti.