Omusajja akikubye!

Mu nsi, omuntu yenna okufuna essanyu mu laavu, alina okufuna omukyala oba omusajja nga mwetegefu okumwagala ku mutima.

Omusajja singa ayagala omukyala, ayinza n’okutta omuntu ate n’omukyala bw’aba ayagadde omusajja, aba tayagala mukyala yenna kutwala musajja we.

Okusinzira ku Ssenga Kawomera, kafulu mu nsonga z’omukwano, laavu okuwangala, akaboozi, kintu kikulu nnyo okuyimirizaawo omukwano ate mu ssanyu.

Ssenga Kawomera agamba nti akaboozi, kayamba nnyo okwongera okutegeera munno era kayamba nnyo okwongera enkolagana mu baagalana.

Newankubadde akaboozi kintu kikulu nnyo mu laavu, Ssenga akawomera agamba nti omusajja yenna alina okunoonya ebitundu ebisumulula omukazi mu kiseera ky’okwegatta.

Agamba nti abakyala balina ebifo eby’enjawulo era singa omusajja alemwa okutegeera ebifo ebyo, ayinza okulemwa okutuusa omukyala yenna ku ntikko.

Mungeri y’emu agamba nti abakyala bangi mu nsi, abalemeddwa okutuuka ku ntikko olw’abasajja obutafaayo kubanoonya bulungi.

Kawomera ku nsonga y’omusajja okuyonka ebbere ly’omukyala, agamba nti abakyala bangi basumulukuka mangu nnyo singa omusajja amukwata ku bbeere oba okuyonka.

Agamba, waliwo abakyala nga bawulira bubi singa omusajja amukwata ku bbeere ate waliwo abakyala nga bawulira bulungi nnyo n’okwanguwa okufuna obwagazi.

Wosomera bino nga Anita Joseph omu ku bawala aboolesa emisono mu ggwanga erya Nigeria avudde mu mbeera olw’ebifaananyi okufuluma nga bba MC Fish ali mu kuyonka ebbere lya Uche Maduagwu, omuzannyi wa firimu mu Nigeria.

Kigambibwa Maduagwu yakutte vidiyo ng’ali mu laavu ne MC Fish era ebifaananyi biraga nti yabadde akooye nnyo oluvanyuma lw’akaboozi.

Wabula Anita avudde mu mbeera era mu kiseera kino okusika omuguwa kweyongedde wakati we ne bba MC Fish.

Mu mawulire amalala, Poliisi mu ggwanga erya Kenya, ekutte abantu 91 nga kigambibwa bannansi b’eggwanga erya Ethiopia ku misango gy’okuyingira mu ggwanga mu ngeri emenya amateeka.

Okusinzira ku kitongole ekinoonyereza ku misango mu ggwanga erya Kenya, abakwate bagiddwa mu nnyumba ku kyalo Kitengela okumpi n’ekibuga Nairobi.

Poliisi era agamba nti bonna abakwate, basajja abali wansi w’emyaka 25.

Kigambibwa okuyingira mu ggwanga, baasobodde okweyambisa Loole ne bayita mu ppanya era basangiddwa nga batekateeka okudduka.

Mu kiseera kino Poliisi eyungudde basajja baayo okunoonya omusajja, eyakulembeddemu okuyingiza abantu abo mu ngeri emenya amateeka.

Mu October, 2021, Poliisi yakwata abantu 14 nga bonna bannansi ba Ethiopia okwali abakulu 4 n’abato 10 nga bali mu Kenya mu bukyamu. Okunoonyereza kulaga nti bangi ku bagwira abali mu Kenya, bayingira mu ngeri emenya amateeka olw’okunoonya emirimu wabula Poliisi esuubiza bonna okubanoonya

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=GxNKy8GkYTA