Poliisi mu disitulikiti y’e Mayuge ekutte omusajja myaka 52, omusawo w’ekinnansi ku misango gy’okusobya ku mulwadde we mu ssabo.

Omusawo wekinnansi Juma Nabuma, omutuuze ku kyalo Ikobo akwattiddwa enkya ya leero oluvanyuma lw’okusobya ku muwala myaka 19.

Asuman Musonke, omu ku batuuze agamba nti omuwala yakubye omulanga ng’ali mu Ssabo n’okusaba okuyambibwa, ekyawaliriza abatuuze okumenya essabo okutaasa.

Kigambibwa, oluvanyuma lw’omuwala okuyingira mu ssabo, Nabuma amuyiiridde amazzi n’ebintu by’obuwunga, era amangu ddala amulagidde okwebaka wansi.

Omuwala agamba nti abadde asuubira Nabuma okumuwa eddagala eddala kyokka bw’asembedde abadde ayagala kumusobyako era y’emu ku nsonga lwaki akubye enduulu, okuyambibwa.

Wakati mu maziga, omuwala agamba nti olw’okutya ng’ali mu ssabo, Nabuma amusobezaako.

Amangu ddala, omuwala atwaliddwa mu ddwaaliro okwekebejjebwa n’okufuna alipoota y’abasawo.

Bashir Siriba, addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Mayuge akakasizza okukwattibwa kwa Nabuma era okunoonyereza kutandikiddewo.

Agamba nti balinze alipoota y’abasawo, okuyambako mu kutwala Nabuma mu kkooti ku misango gy’okusobya ku muwala.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=AabUO0H4aos