Omuzinnyi asabbalaza omusajja bw’abadde alaga eggwanga ekitone ky’okuzina.
Okusinzira ku vidiyo eri mu kutambula ku mukutu gwa Instagram, omuwala yasobodde okulaga nti ddala ategeera kye bayita okuzina.
Mu vidiyo, waliwo omusajja eyabadde yebasse ku buliri nga yeetegereza ekitone ky’omwana omuwala.

Omuwala okulaga nti ddala, alina ekitone, naye yabadde afukamidde okulaga omusajja nti alina ‘work’.
Ng’omuwala omulala yenna alina ekitone, yakubye ddansi omuli okunyenya ekiwato, emikono nga buli kitundu ku mubiri gwe, kikola.
Vidiyo!
Mu Africa abaana abalina talenti naddala y’okuzina era bangi bafunye ssente okukyusa obulamu lwa kuzina.
Wano mu Uganda, abaana ba Ghetto Kids, basobodde okufuna ssente nga bayita mu kuzina ssaako n’okuyambako abayimbi okutunda ennyimba zaabwe omuli Sitya Loss olwa Eddy Kenzo.

Waliwo abaana ba Masaka Kids Africana, bafunye ebintu eby’enjawulo olwa Talenti y’okuzina omuli ne Schools Fees olwa ssente eziva mu U-tube yaabwe.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=xvXx2JyWVNI