Omusajja akubye mukyala we emiggo, bw’amukutte ng’ali mu kaboozi n’omusajja omulala owa bodaboda.
Omusajja ategerekeseeko erya Katende ali mu myaka 35 agamba nti aludde ng’afuna amawulire nti mukyala we alina omusajja omulala.
Akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Mmande nga 17, Janwali, 2022, Katende agamba nti ku ssaawa 10 yabadde tawulira bulungi, kwe kusalawo okudda awaka mu bitundu bye Lugoba, Kawempe.
Katende agamba nti bwe yabadde yakatuuka awaka, omukyala yabadde mu nnyumba nga waliwo Pikipiki mu luggya era yafunye okutya nti ddala mukyala we ali mu bwenzi n’omusajja wa bodaboda.
Yagyeemu engatto okuyingira mu nnyumba era amaaso gaatukidde ku mukyala we nga yenna ali bute, ali mu kaboozi n’omusajja wa bodaboda ali mu gy’obukulu 45.
Katende agamba nti mukyala we Nankya ali mu myaka 26 era abadde naye okuva omwaka oguwedde mu Julayi, 2021 nga tebalina mwana yenna mu kiseera kino.
Oluvanyuma lw’okusanga omukyala ng’ali mu mukwano n’omusajja wa bodaboda, omukyala yakubiddwa emiggo kyokka omusiguze yasobodde okudduka ne Pikipiki ye, okwewala emiggo gy’abatuuze n’okutwalibwa ku Poliisi.
Katende agamba nti bwe yatuuse mu ddiiro, mukyala we yabadde ali mu kusinda n’okuwaana omusajja nti “ayi daddy oli wanjawulo nnyo ku basajja abalala”.
Omukyala yakubye enduulu era abatuuze webatuukidde nga yenna akubiddwa mu ffeesi, atonnya musaayi.
Omukyala ayogedde!
Omukyala wakati mu kulukusa amaziga, agamba nti bba Katende alabika alina ekizibu mu nsonga z’omu kisenge.
Agamba nti Katende ayagala nnyo okwegata kyokka tasobola kuwangala mu kisaawe okusukka eddakika 3, era ye abadde abikooye, kwe kunoonya omusajja ayinza okumuwa ku ssanyu ly’omu kisenge wadde Katende musajja we amwagala ku mutima.
Omukyala asabye bba okumusonyiwa kuba wadde asobodde okuleeta omusajja mu nnyumba mu kisenge kye, yakoze nsobi era agamba nti tasobola kukiddamu.
Omusajja alemeddeko!
Katende agamba nti omukyala okuleeta omusajja mu nnyumba, kiraga nti asukkiridde obwenzi, era wadde asabye okumusonyiwa, tasobola kuddamu kumukkiriza kudda mu makaage.
Abatuuze batabukidde omukyala!
Abatuuze ku kyalo Lugoba batabukidde omukyala nga bagamba nti asukkiridde ejjoogo nga kiswaza omukyala omufumbo okuleeta omusajja ku buliri bwa bba.
Abatuuze basabye omusajja Katende okunoonya omukyala omulala okusinga okuwa omukisa mukyala we ayinza okuleeta ebirwadde mu maka kuba kati alaze nti ye bwenzi nnyo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=h0nlmO5jOHQ