Ssemaka ali mu gy’obukulu 50 aswadde mu maaso ga mukyala we ssaako n’abatuuze, bw’akwattiddwa ng’ali mu kaboozi n’omukozi w’awaka mu Galagi.

Ssemaka ono ategerekeseeko erya Kalungi nga mutuuze we Namasuba ku luguudo lwe Ndejje – Kikajjo mu zzooni ya Lufuka, bamukutte lubona ng’ali mu kusinda mukwano n’omukozi ali mu myaka 25 ategerekeseeko erya Molly.

Molly agamba nti mu biseera by’omuggalo mu 2021 wakati mu kulwanyisa Covid-19, omusajja yali takola ng’asiiba waka kyokka ng’omukyala w’awaka maama Carol, alina woteeri mu Kampala era yali akeera mu kibuga.

Mu biseera ebyo, Molly agamba nti Kalungi, yatandika mpolampola okumukwatirira mu bitundu eby’enjawulo omuli n’amabbeere okulaga nti yali amwegwanyiza.

Mungeri y’emu Molly agamba nti olw’okutya okumugoba ku mulimu, yasalawo okwagala Katende mu nkukutu era okuva mu Julayi, 2021, abadde mu laavu n’omusajja.

Wakati mu maziga, Molly abotodde ekyama nti olunnaku olw’eggulo ku Lwokubiri nga 18, Janwali, 2022, Kalungi yamukubidde essimu ku ssaawa 10 ez’akawungeezi nti amusubwa nnyo, nga balina okunyumya akaboozi enkya ya leero.

Molly agamba nti ku ssaawa emu ey’okumakya (7:00AM), omukyala akedde kugenda ku mulimu era Kalungi asigadde waka nga yebase.

Ku ssaawa 4 ez’okumakya, Kalungi avudde mu buliri era Molly abadde akedde kukola mirimu gye.

Kalungi asobodde okweyambisa obuyinza bwe nga ssemaka okuyita Molly ng’ali mu galagi y’emmotoka era amangu ddala okwenywegera kutandikiddewo, okutambuza emikono ssaako okwekuba sipeeya.

Wakati mu kusinda omukwano, Molly abadde awuuna nnyo n’okuvaamu amaloboozi g’omukwano ‘Oh, Oh, Oh’ kyokka ekyembi, omukyala maama Carol, agamba nti abadde yerabidde ssente z’okusuubula mu kasawo awaka ng’alina okulinya bodaboda okukima ssente.

Maama Carol agamba nti awulidde amaloboozi g’omukyala ng’ali mu kaboozi okuva mu galagi y’emmotoka era amaaso gatuukidde ku bba ng’ali mu kaboozi n’omukozi Molly ku kifaliso ekikadde ekibadde mu galagi.

Maama Carol akubye omulanga okuyambibwa n’okulumba Molly okulwana kyokka Kalungi asobodde okutaasa Molly ku mukyala we nga bw’asaba mukyala we okumusonyiwa.

Abatuuze webatuukidde nga maama Carol ali mu maziga olwa bba okudda ku mukozi waabwe era amangu ddala Molly agobeddwa awaka, abatuuze nga begatiddwako maama Carol wabula ssemaka Kalungi asigadde mu nnyumba mu kisenge kye.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=N4ylVTq6sWE&t=403s