Gavana wa Bbanka ya Uganda Emmanuel Tumusiime Mutebile.
Mutebile afiiridde mu ddwaaliro e Nairobi enkya ya leero mu ggwanga erya Kenya ku myaka 72, okusinzira ku Micheal Atingi-Ego abadde omumyuka we.

Mutebile yatwalibwa mu ddwaaliro e Nairobi ku Ssande nga 31, Desemba, 2021 oluvanyuma lw’obulwadde bwa Sukkaali okweyongera.
Wadde musajja alina ssente, abadde mu malwaliro ag’enjawulo olwa sukkaali okweyongera okumutawanya ennyo.
Mutebile kati omugenzi abadde mu Polofeesa mu byenfuna era abadde Gavana wa Bbanka ya Uganda okuva mu 2001 era abadde ssentebe w’olukiiko olukulira emirimu gya bbanka ya Uganda.

Mu 2021, ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yaddamu okulonda Prof. Emmanuel Tumusiime-Mutebile okudda ku bwa Gavana bwa Bbanka.
Okuva 1992 – 2001, yali omuwandiisi omukulu mu minisitule y’ebyensimbi era oluvanyuma yalondebwa ku bwa Gavana.

Omugenzi Mutebile

Mu byafaayo bya Uganda, Mutebile yakola nnyo okuyamba Uganda okuddamu okutebenkeza ebyenfuna wakati wa 1970 – mu myaka gye 1980.
Yaliko omukugu mu byenfuna eyeebuzibwako mu Bbanka y’ensi yonna, ekitongole ky’ebyensimbi ekya IMF (International Monetary Fund), Organization for Economic Cooperation and Development, Macroeconomic and Financial Management Institute of East and Central Africa, UK Department for International Development ssaako n’okuyamba ensi mu Africa mu byenfuna omuli Rwanda, Kenya, Tanzania n’amawanga amalala Eritrea ne Nepal.

Emmanuel Tumusiime-Mutebile yazaalibwa nga 27, Janwali, 1949. Yasooka okulondebwa ku bwa Gavana bwa Bbanka ya Uganda nga 1, Janwali, 2001, yaddamu okuweebwa ekisanja kya myaka etaano (5) nga 1, Janwali, 2006. Mu 2015, yaddamu okulondebwa ku bwa Gavana okuva nga 12, Janwali, 2016.
Mutebile yasomera ku Kigezi College Butobere (S1-S4), Makerere College School mu Kampala (S5-S6). Mu 1970, yayingira ku Yunivasite e Makerere.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=aO0qxC_nZP8