Minisitule y’ebyobulamu ng’eri wamu n’ekitongole ekivunaanyizibwa mu kutumbula Talenti n’okulambika ku by’okutekateeka ebivvulu ekya Uganda National Cultural Center ssaako ne Minisitule, y’ekikula ky’abantu, emirimu ne by’enkulakulana, baliko amateeka gebali mu kutekateeka, mu kulambika ebivvulu nga bizzeemu olw’okutangira Covid-19 okuddamu okweyongera.

Okusinzira ku biragiro by’omukulembeze w’eggwanga lino era ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) Yoweri Kaguta Museveni, okuva nga 24, omwezi guno ogwa Janwali, 2022, ebivvulu byakuddamu, ebbaala era bangi ku bannayuganda, bali mu kwetekateeka.

Wabula okusinzira ku biragiro ebiggya, omuyimbi yenna okulinya ku siteegi, alina okulaga kaadi nti yagemeseddwa Covid-19 oba okulaga nti yakebeddwa mu ssaawa 72, nga tannaba kulinya ku siteegi.

Ate abadigize bonna okuyingira, balina okulaga nti bagemeddwa, abadigize okusemberera abayimbi tekikirizibwa wadde okubafuwa ssente mu kiseera kino eky’okulwanyisa Covid-19.

Abategesi, balina okuleka mita 3, okuva ku siteegi okudda mu badigize, buli muntu alina okwambala masiki ebiseera byonna ng’ali mu kivvulu ate buli muntu ayingira ekivvulu, alina okunaaba mu ngalo.

Robert Musiitwa, omwogezi wa Uganda National Cultural Center, agamba nti buli mutegesi singa agezaako okuzimuula ebiragiro, ekivvulu kiggya kuyimirizibwa.

Mungeri y’emu agamba nti okutangira embeera okusajjuka, omuntu yenna okulinya ku siteegi, buli kiragiro, kirina okuteekebwa mu nkola.

Ku bivvulu ebiri munda, ekifo kyonna kirina okufuyirwa nga tebannaba kukiriza muntu yenna kuyingira.

https://www.galaxyfm.co.ug/wp-content/uploads/2022/01/Musiitwa-One-Final.mp3
Eddoboozi lya Musiitwa

Ku nsonga eyo, Emmanuel Ainebyona, omwogezi wa Minisitule y’ebyobulamu, agamba nti, ebiragiro ebyenkomeredde bigenda kufulumizibwa essaawa yonna n’okulambika buli munnayuganda.

Mungeri ne Gavumenti mu ggwanga erya Rwanda ekkiriza bannansi okuddamu okutekateeka ebivvulu.

Ebivvulu byali byawerebwa mu Desemba, 2021, wakati mu kulwanyisa Covid-19 n’okutangira Omicron okweyongera.

Wabula Kabinenti ekkiriza bannansi okuddamu okulya obulamu.

Okutekateeka ebivvulu, omuntu yenna alina okufuna olukusa mu nnaku 10.

Okutunda tiketi, balina kweyambisa mitimbagano, ebivvulu eby’omunda bakkiriza abantu ebitundu 50 ku 100 ate ebivvulu ebiri w’abweru omuli ebisaawe, ebitundu 75 ku 100.

Mu biragiro, ebiyisiddwa, buli muntu yenna okuyingira ekivvulu, alina okulaga kaadi, eraga nti yagemeseddwa Covid-19.

‘Theatres’ and ‘cinema’ ziguddwa kyokka abantu abalina okuyingira, Gavumenti ekkiriza ebintu 50 ku 100.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=riw4ejTcUE4