Omuyimbi Sheebah Kalungi ayongedde okulaga nti ddala ye mukyala wa njawulo nnyo era y’emu ku nsonga lwaki y’omu ku bakyala abayimbi abakwatiridde ekisaawe ky’okuyimba.

Sheebah oluvanyuma lw’okwawukana ne manejja we, Jeff Kiwa mu kibiina kya Team No Sleep (TNS), atandiise okulaga nti asobola okweyimirizaawo nga talina manejja.

Oluvanyuma lw’okwawukana, Sheebah yafulumiza oluyimba lw’eddiini ‘Mukama Yamba’ mu ngeri y’okusaba Omutonzi okumukwasizaako mu mbeera yonna omuli n’okutumbula Talenti ye.

Wosomera bino nga Sheebah ali mu ntekateeka okutekateeka ekivvulu kyokka alinamu okutya.

Okuva olunnaku olw’enkya Mmande nga 24, Janwali, 2022, ebivvulu bigenda kuddamu mu ggwanga lyonna era buli muyimbi ali mu kwetekateeka.

Sheebah asobodde okweyambisa omukutu gwe gwa Instagram, okutegeeza abawagizi be nti ani eyeetegese kuba ali mu kutekateeka kanivo ye egenda okusooka nga Sheebah nga talina manejja, “Who’s ready for the very first carnival in 🇺🇬!! Would you attend? Should I set the date already?”.

Wadde Sheebah alaze nti ali mu muudu ya Kanivo, tannaba kufuna lunnaku.

Mu kiseera kino eyali Manejja we Jeff Kiwa, yafunye omuyimbi omulala Nanyanzi Rahmah myaka 18 amanyikiddwa ng’omuyimbi Rahmah Pinky.

Pinky alina ennyimba ez’enjawulo Superstar, Tontankuula n’endala.

Wabula okusinzira ku biragiro ebiggya wakati mu kulwanyisa Covid-19 mu ggwanga, omuyimbi yenna okulinya ku siteegi, alina okulaga kaadi nti yagemeseddwa Covid-19 oba okulaga nti yakebeddwa mu ssaawa 72, nga tannaba kulinya ku siteegi.
Ate abadigize bonna okuyingira, balina okulaga nti bagemeddwa, abadigize okusemberera abayimbi tekikirizibwa wadde okubafuwa ssente.

Abategesi, balina okuleka mita 3, okuva ku siteegi okudda mu badigize, buli muntu alina okwambala masiki ebiseera byonna ng’ali mu kivvulu ate buli muntu ayingira ekivvulu, alina okunaaba mu ngalo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=riw4ejTcUE4