Poliisi e Mbale ekutte Pasita ku misango gy’okusobya ku boluganda, maama y’omu, taata y’omu era bonna kati bali mbuto.
Pasita Israel Wamoto, okuva ku Prayer Alter Church mu disitulikiti y’e Mbale yakwattiddwa.
Pasita Wamoto, yasobodde okweyambisa omukisa ng’abaana, tebannaba kuddayo ku massomero okubasobyako okuli omuto myaka 14 ne mukulu we myaka 17.
Abaana bombi, nga batuuze ku kyalo Bunamono, yabasuubiza nga bw’agenda okubasabira era kigambibwa abadde abamutwala mu loogi ssaako okweyambisa ekkanisa ye, okusinda omukwano nga yefudde agoba emizimu.
Okusinzira ku Paul Welishe, taata w’abaana, Pasita Wamoto yabasuubiza nga bw’agenda okusabira abaana baabwe ssaako n’okweyongera okutegeera Katonda.
Wabula nga tusemberedde okumalako omwaka oguwedde ogwa 2021, Pasita Wamoto, yatwala omuwala omukulu okumala ennaku musanvu (7) era yazuulibwa, oluvanyuma lw’okutegeeza ku batuuze, okuyambako mu kunoonya Pasita n’omwana waabwe.
Taata agamba nti omwana yabategezezza nti Pasita, yamufuula dda mukyala we era abadde amukozesa obudde bwonna.
Omwana agamba nti mu kusooka, Pasita yamutigatiga n’okutambuza emikono mu bitundu by’ekyama nga yefudde, amusiiga amafuta era kyagwera mu kkanisa ku ssaawa nga 3 ez’ekiro.
Ate omuwala omuto, agamba nti naye kyagwera mu kkanisa, nga Pasita mu kusooka yamusaba okweyambula okumusiiga amafuta, yawunzika amusobezaako.
Abaana bombi, bagamba nti pasita Wamoto abadde abakyusa nga ngoye, okutuusa lwe bafunye engoye.
Taata Welishe agamba nti Pasita yatwala muwala we mu ggwanga lya Kenya okumala wiiki 2 okusinda omukwano nga tewali abagambako wadde ayinza okubalemesa.

Eddoboozi lya taata

Ate abatuuze nga bakulembeddwamu Richard Mutaama, bagamba nti Pasita yasobodde okweyambisa ekiseera ng’abaana bakyali ku muggalo okubasobyako.
Abatuuze bawanjagidde Poliisi, Pasita Wamoto okuba eky’okulabirako eri abantu abalala, abayinza okusobya ku baana abato.

Eddoboozi lya Mutaama

Ate ssentebe w’ekyalo Okello Odia agamba nti mu kusooka Pasita yali musajja muntumulamu nnyo wabula kati akooye emisango gya Pasita okusobya ku baana abato n’okusigula Bakabasajja.
Mu kiseera kino Pasita ali ku kitebe kya Poliisi e Mbale mu ggoombolola y’e Busoba ku misango gy’okusobya ku baana abato.
Wabula omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, Rogers Taitika agamba nti alipoota y’abasawo, ekizudde nti abaana abali mbuto era Pasita aludde ng’abasobyako.
Taitika agamba nti wadde Pasita ali mu mikono gyabwe, okunoonyereza okuzuula ekituufu kukyagenda mu maaso.