Maama atwaliddwa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi oluvanyuma lwa bba okumuluma okutu mu kiro ekikeesezza olwaleero ng’amuteebereza okufuna omusajja omulala n’okumumma akaboozi.

Omukyala ategerekeseeko erya Rose Mary nga mutuuze mu Kiwummulo ward mu Mateete Tawuni kkanso mu Disitulikiti y’e Sembabule yatwaliddwa mu ddwaaliro nga yenna atonnya musaayi.

Mary agamba nti bba Katende yakomyewo ekiro ku ssaawa nga musanvu okuva mu bbaala nga yenna atamidde kwe kutandika okumusojja nga bwamulumiriza okufuna ensimbi okuva mu basajja abalala.

Mary agamba nti ku ssaawa nga 9 ez’ekiro, bba yabadde ayagala kwegatta kyokka olwagaanye, omusajja yavudde mu mbeera.

Katende yeyongedde okuva mu mbeera era bwe yabadde agezaako okusobya ku mukyala we, kwe kumuluma okutu kwa ddyo.

Mary ayongeddeko nti abadde aludde nga tajja waka nga tabawa buyambi kwe kutandika okuyiiya obulimo ku kyalo kyokka bwe yakomyewo, yatandikiddewo okumulumiriza obwenzi.

Wabula akulira ebyokwerinda ku kyalo Bonny Mugerwa agamba nti abafumbo bano baludde nga bagugulana ng’omusajja abadde alumiriza mukyalawe okusuulawo obuvunanyuzibwa mu kisenge n’agenda n’abasajja abalala, ekiyinza okuleeta obulwadde.

Wadde omukyala atwaliddwa mu ddwaaliro, Omusajja Katende aliira ku nsiko mu kiseera kino.

Ate abasirikale babiri (2) okuva mu kitongole ky’amaggye ekya Uganda people’s Defense Forces UPDF bafiiridde mu kabenje mu disitulikiti y’e Tororo.

Bonna batomeddwa ekimotoka ekitambuza ebyamaguzi ku luguudo lwe Tororo, Mbale, Malaba,Jinja okudda mu Monicipaali y’e Tororo.

Bannamaggye abafudde kuliko Warrant Officer Collins Manayanga ne private James Tumusime okuva mu kitongole ky’omusolo ekya Uganda Revenue Authority ku offiisi ze Malaba.

Charles Onyango, omu ku batuuze abeerabiddeko n’agaabwe agamba nti Tuleera namba KCB 973X/Z5045 yalemeredde ddereeva kwe kuyingirira Toyota Hilux double cabin namba UBA948/S nga ya kitongole kya Uganda Revenue Authority kwe kutta abasirikale babiri (2).

Okusinzira kw’addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Tororo DPC Rodger Chebene agamba nti okunoonyereza kulaga nti akabenje kaavudde kuvuga ndiima wabula okunoonyereza kugenda mu maaso.

Mu kiseera kino Poliisi eri mu kunoonya ddereeva eyabadde avuga Tuleera, aliira ku nsiko.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=TUW9OxHLKck