Abasirikale babiri (2) okuva mu kitongole ky’amaggye ekya Uganda people’s Defense Forces UPDF bafiiridde mu kabenje mu disitulikiti y’e Tororo.
Bonna batomeddwa ekimotoka ekitambuza ebyamaguzi ku luguudo lwe Tororo, Mbale, Malaba,Jinja okudda mu Monicipaali y’e Tororo.
Bannamaggye abafudde kuliko Warrant Officer Collins Manayanga ne private James Tumusime okuva mu kitongole ky’omusolo ekya Uganda Revenue Authority ku offiisi ze Malaba.
Charles Onyango, omu ku batuuze abeerabiddeko n’agaabwe agamba nti Tuleera namba KCB 973X/Z5045 yalemeredde ddereeva kwe kuyingirira Toyota Hilux double cabin namba UBA948/S nga ya kitongole kya Uganda Revenue Authority kwe kutta abasirikale babiri (2).
Okusinzira kw’addumira Poliisi mu disitulikiti y’e Tororo DPC Rodger Chebene agamba nti okunoonyereza kulaga nti akabenje kaavudde kuvuga ndiima wabula okunoonyereza kugenda mu maaso.
Mu kiseera kino Poliisi eri mu kunoonya ddereeva eyabadde avuga Tuleera, aliira ku nsiko.