Bannansi bakyali mu kutya olwa Fr Simon Lokodo, eyali minisita w’empisa n’obuntu bulamu okufa.
Fr Lokodo yafiiridde mu kibuga Geneva mu ggwanga erya Switzerland olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga.
Okusinzira ku mawulire agava mu ggwanga erya Switzerland, Fr Lokodo yatwalibwa mu ddwaaliro ng’ali mu mbeera mbi okutuusa lw’afudde.
Fr Lokodo yabadde akiikiridde ssentebe w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu aka Uganda Human Rights Commission mu kibuga Geneva okuteesa ku nsonga z’eddembe ly’obuntu.
Crispin Kaheru, Memba w’akakiiko k’eddembe ly’obuntu bw’abadde awayamu naffe, agambye nti Fr Lokodo yavudde mu ggwanga ku lunnaku Olwokubiri nga talaga nti mulwadde wabula bwe yabadde mu lukiiko mu kibuga Geneva ne banne, yatandiise okunafuwa nga tawulira bulungi. Amangu ddala yatwaliddwa mu ddwaaliro mu kibuga Geneva.
Kaheru agamba nti olw’okuba Fr Lokodo yabadde alaga nti omubiri gunafuye nnyo, abasawo baasabye okumusigaza okusobola okwongera okumwekeneenya. Fr Lokodo abadde mu ddwaaliro okumala ennaku 2 okutuusa lwe yafudde olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga.
Kinnajjukirwa nti ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni yali yalonda Fr Lokodo nga memba ku kakiiko k’eddembe ly’obuntu oluvanyuma lw’okugibwako obwa Minisita era yafiiridde ku myaka 64.
Lokodo abadde ku bwa Minisita bw’empisa n’obuntu bulamu emyaka kumpi 10. Yaliko Minisita omubeezi ku nsonga z’amakolero wakati wa 2009 – 2011 era yaliko omubaka we Dodoth.
Abaana bakaaba!
Lokodo abadde alina abaana abasukka 10 okuva mu famire ez’enjawulo mu maka ga bamufuna mpola omuli bamulekwa era bali ku masomero ag’enjawulo nga okufa kwe, kuyinza okutaataganya okusoma kwabwe.
Lokodo abadde alina abaana abali mu Primary, Secondary ne University, baalabirira omuli okuwa School Fees.
Omu ku baana ategerekeseeko erya Andrew nga y’omu ku bali ku Makerere University, wakati mu kulukusa amaziga, agambye nti oluvanyuma lwa kitaawe okufa mu 2018, Lokodo abadde amusasulira buli kimu era okufa kwe, kuyinza okutaataganya okusoma kwe.
Ate John agamba nti Lokodo abadde kitaawe mu Katonda era akoze nnyo okumulambika mu Katonda.
Mu kiseera kino bannansi balinze entekateeka z’okuziika Fr Lokodo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=2_3hFKHbJFM