Abasawo bagamba nti kyabulabe omuntu yenna okwemanyiza okulaba vidiyo z’obuseegu kuba kiyinza okuviraako omuntu yenna okufuna ebizibu eby’enjawulo nga mu nsi, buli musajja yetaaga omukyala Namazzi.
Okusinzira ku Dr. Nyanzi okuva ku Pearl Medical Centre ku Luguudo lwe Kampala – Ggaba, omuntu yenna singa afuna omuze gw’okulaba vidiyo z’obuseegu, ayinza okutandika okwematiza mu nsonga z’omu kisenge. Omuntu ky’akola bw’abeera ku kavidiyo kano kyangu okwenyigira mu kikolwa ky’okwematiza ekireetawo okukendeera kw’amaanyi g’ekisajja mu basajja ate abakyala, ayinza okukoowa abasajja.
Dr. Nyanzi agamba nti waliwo okunoonyereza okwakolebwa gye buvuddeko ne kuzuula nti, abasajja abali wakati w’emyaka 20- 40, bangi abafuna ekizibu ky’obutabeera na maanyi mu kisenge, ekimu ku byasongebwako okuba nga kye kireese embeera eno okweyongera kwe kwemanyiiza okulaba ebifaananyi n’obutambi bw’ekikulu, wadde nga waliwo n’ensonga endala ezibuza amaanyi g’ekisajja. Okunoonyereza era kulaga nti ku buli basajja 100 wakati w’emyaka 20-40, 70 balina vidiyo z’obuseegu mu ssimu zaabwe.
Dr Nyanzi era agamba nti okulaba vidiyo z’obuseegu, kiyinza okubuza obwagazi eri munno. Omusajja oba omukyala yeesanga nga bw’abeera ne mukyala we oba omusajja mu kikolwa, tawangaalira mu kisaawe kubanga obwongo bwe buba bwamanyiira kwemazisa yekka. Okunoonyereza kulaga nti kino kibaawo kuba obusimu obuleetera omuntu butuuka nga tebukyasituka olw’okubanga amazzi gali gaweddemu ate abamu bakola okwemazisa nga tebalya bulungi. Abasajja abasinga buli lw’atandika okwenyigira mu bikolwa bino naddala abafumbo, ekiseera kituuka ng’akatambi kamumalira ensonga ze.
Alipoota za Poliisi ziraga nti, okusobya ku baana kweyongera nga kivudde ku nsonga ez’enjawulo omuli abasajja okulaba vidiyo z’obuseegu. Kyangu nnyo omuntu abadde alaba akatambi okusobya ku mwana oba omukyala yenna kuba abeera ayagala ekiseera ekyo ky’abadde alaba akikolerewo olw’obwagazi obujjira mu katambi, ekivaako okumenya amateeka.
Dr. Ntambi agamba nti okulaba vidiyo z’obuseegu, kiyinza okuvaako Kkansa. Kino ku baami kiggyawo nti mu kiseera ky’okwematiza, gy’akoma okusika olususu oba ekiriba ky’obusajja waggulu ne wansi, afuna okunuubulwa munda ate oluusi amabwa ne gatuuka nga tegakyawona n’afuna ‘Uretheral Cancer, ekiyinza okuvaako omusajja yenna okufa.
Ate mu bakyala, omukyala yenna mu kulaba obutambi, afuna obwagazi bw’okwemazisa era abamu bakozesa ebintu eby’enjawulo nga bbiringanya, amenvu era ayinza okwefumita oba okwekoona olw’obwagazi obungi obubaawo n’akosa nnabaana. Ate amabwa ago gatuuka nga tegakyawona okukkakkana nga muvuddemu ekika kya kkansa wa nnabaana.
Abamu bayiga emize gy’okukola akaboozi mu bifo ebikyamu olw’ebyo bye balaba mu butambi, weesanga nti ate baagala okubikola okukkakkana nga bibakosezza mu bulamu bwabwe, ekiyinza okukosa oyo gw’abeera naye.
Dr. Nyanzi agamba nti omuntu yenna okwewala ebikolwa ebikyamu omuli okwematiza, alina okwewala vidiyo z’obuseegu mu ssimu kuba kiyambako okwewala okukemebwa.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=nu15MA1ciFw