Kyaddaki Poliisi y’e Buwenge mu disitulikiti y’e Jinja ekutte omusawo Juma Toola myaka 40 ku misango gy’okusobya ku mukyala omulwadde, eyali agenze mu ddwaaliro okumujanjaba.

Omukyala myaka 20, yali avuddemu olubuto era nga 29, Desemba, 2021, yakeera kuddukira mu ddwaaliro ekkulu e Buwenge, okumwoza mu lubuto.

Wabula nga bali mu kasenge n’omusawo, Dr. Toola, yefuula omusawo omulungi agenda okumukolako obulungi, so kumbe amaaso n’ebirowoozo biri ku bitundu by’ekyama.

Mu sitetimenti ku Poliisi, omukyala agamba nti Dr. Toola yamukaka omukwano nga bali mu kasenge k’eddwaaliro.

James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira – Jinja, agamba nti omusawo wa Poliisi ku Poliisi y’e Kiira SP Vincent Masinde, yasobola okwekebejja omukyala, oluvanyuma lw’okumusobyako.

Mubi agamba nti Dr. Toola atwaliddwa ku kitebe kya Poliisi e Buwenge ku misango gy’okusobya ku mukyala era yakwattiddwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Mmande nga 31, Janwali, 2022.

James Mubi

Mu kiseera kino Poliisi ekyanoonyereza era essaawa yonna Dr. Toola bagenda kumutwala mu kkooti abitebye.

Mungeri y’emu Mubi avumiridde ekya Dr. Tool, okwenyigira mu kutyoboola eddembe ly’abakyala.

Ate Poliisi y’e Kiira, eri mu kunoonya omukyala eyavuddeko omusirikale munnamaggye Private Michael Kwewana ali mu gy’obukulu 40 okuttibwa.

Private Kwewana okuva ku kitebe ky’amaggye ekya Gaddafi e Jinja yafunye obutakaanya ne mukwano gwe Zakayo Ngobi myaka 23 nga muntu wa buligyo, nga bali mu bbaala ya Kamuyodisa bar and guesthouse ku kyalo Bwase mu Tawuni Kanso y’e Buwenge mu disitulikiti y’e Jinja ku ssaawa nga 9 ez’ekiro.

Kigambibwa, waliwo omukyala eyavuddeko obuzibu nga buli omu agamba nti mukyala we era wakati mu kusika omuguwa, Zakayo, yafumise Private Kwewana akambe mu lubuto ne ku bulago.

Private Kwewana yaddusiddwa mu ddwaaliro wakati mu kutonnya omusaayi era afiiridde mu ddwaaliro ly’amaggye e Bombo.

Wabula James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira – Jinja, agamba nti  Zakayo Ngobi akwattiddwa ku misango gy’okutta omuntu era atwaliddwa ku Poliisi y’e Nalufenya nga n’okunoonya omukyala eyavuddeko obuzibu, kutandikiddewo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=-joN1kDeu7E