Abasibe, bannakibiina ki National Unity Platform (NUP) Muhammad Ssegirinya, omubaka we Kawempe North ssaako ne Allan Ssewanyana owe Makindye West, bakangudde ku ddoboozi nga bawakanya eky’okuwera abagenyi mu kkomera e Kigo nga bekwasa okutangira Covid-19, ekyongedde okubanyigiriza.
Ssegirinya ne Ssewanyana, balabiseeko mu maaso g’omulamuzi Christine Nantege, owa kkooti esookerwako e Masaka ku misango gy’obutemu, mu kitta bantu ekyali e Masaka wakati w’omwezi Ogwomusanvu N’ogwomunaana, 2021, omwafiira abasukka 20.
Nga basinzira ‘zoomu’ mu kkomera e Kigo, Ssewanyana agambye nti eky’okulemesa abagenyi, okukyalira abasibe mu kkomera e Kigo, kiringa ekigendereddwamu okubanyigiriza.
Ssewanyana, kabuze kata akulukuse amaziga, olw’ekkomera, okubalemesa okulaba ku famire zaabwe, bannamateeka baabwe, emikwano gyabwe ate ng’abasibe, bakkirizibwa okufuluma ekkomera nga bagenda ku mirimu omuli okulima.
Ate Ssegirinya, agambye nti nnyina ali mu mbeera mbi, nga bukya asindikibwa mu kkomera, nnyina taddangamu kufuna bujanjabi.
Mungeri y’emu agambye nti yali aweerera abaana bangi ddala nga mu kiseera kino, bakyali waka olw’okubulwa ensimbi okudda ku massomero.
Ate munnamateeka waabwe Malende Shamim era omubaka omukyala owa Kampala, naye akaatiriza ku nsonga ezo, ez’okulemesa bannamateeka okulaba abasibe, eky’okungedde okutaataganya entekateeka zaabwe ez’okwetekateeka, okwewozaako nga batuuse mu kkooti enkulu.
Mu kkooti, oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Richard Birivumbuka, asuubiza okusisinkana abakulu mu kitongole eky’amakkomera, okusalira ensonga ezo amagezi.
Ate Omulamuzi Nantege alagidde ekitongole eky’amakkomera okufuna entekateeka, abasibe okulaba abantu baabwe ssaako ne bannamateeka baabwe.
Gwo omusango gwongezeddwaayo okutuusa nga 22, omwezi guno Ogwokubiri, 2022.
Ate abatuuze mu zzooni y’e Mulimira e Kamwokya, basula ku tebukye, olwa babbi, abeyongedde mu kitundu kyabwe, nga benyigidde mu kumenya amayumba buli kiro, ne batwala buli kantu.
Okusinzira ku Muhammad Kabugo, atwala ebyokwerinda ku kyalo Mulimira, ababbi abali mu kitundu kyabwe, batambula n’ebissi omuli ebiso, ekyongedde okutiisa abatuuze.
Kabugo, era agamba nti abatuuze okutya okuwa Poliisi obujjulizi ku abantu abakwattiddwa, kyongedde okusajjula embeera, ebitongole ebikuuma ddembe okuyimbula ababbi abakwattiddwa olw’okubulwa obujjulizi nga batuuse mu kkooti.
Ku nsonga ezo, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano Luke Owoyesigyire, agamba nti abatuuze okutya okuwa obujjulizi, kyongedde okusanyalaza emirimu gyabwe.
Owoyesigyire agamba nti bangi ku baana bakwattiddwa, kyokka bayimbuddwa nga tebalina bujjulizi, ne baddamu okutigomya abatuuze.
Bw’abadde awayamu 100.2 Galaxy FM, Owoyesigyire awanjagidde abatuuze, okuvaayo okuyamba ku Poliisi nga baleeta obujjulizi, kiyambeko mu kulwanyisa ebikolobero.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=os9VIK5TdOA