Omuntu owokubiri azuuliddwa nga yattibwa, era nga omulambo, gusangiddwa mu kinnya kya kazambi, mu maka g’omugagga Tumwine Charles ne mukyala we Naome Tumwine, abatuuze b’e Kabowa mu divizoni y’e Rubaga mu Kampala.

Sabiiti ewedde ku Lwomukaaga, Poliisi yazuula omulambo gwa Turyasingura Patrick, eyabula nga 26, omwezi oguwedde ogwa Janwali, 2022 mu kinnya kye kimu ekya kazambi.

Wakati mu kunoonyereza,  Poliisi wezuulidde omulambo Ogwokubiri wabula nga gutandiise okuvunda, kizibu kya kutegeera muntu era gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mulago okwekebejjebwa.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti Poliisi y’e Katwe ebadde mu kunoonya omusajja Akandida Roland okuva mu maka gegamu, eyabula mu Desemba wa 2020.

Luke Owoyesigyire

Owoyesigyire agamba nti omulambo gugenda kugibwako ‘Ndaga Butonde’ kuba kiteeberezebwa guyinza okuba omulambo gwa Akandida.

Mu kiseera kino, Naome Tumwine ne Muhangi Norman bali ku Poliisi y’e Katwe nga Poliisi bw’enoonya omusajja Tumwine Charles, aliira ku nsiko mu kiseera kino.

Ate Poliisi y’e Kiira etandiise okunoonyereza ku mukyala attiddwa, ekirese abatuuze nga bali mu kiyongobero.

Asha Anjo myaka 20 abadde omutuuze ku kyalo Wanyange cell mu Kibuga kye Jinja, azuuliddwa enkya ya leero nga z’embuyaga ezikunta.

Omulambo gwe, gulabiddwa abatuuze nga gusuuliddwa mu kasiko, mu kakubo akatono, akayingira ku luguudo lwa Jinja – Iganga.

Omu ku batuuze agaanye okwatuukiriza amannya ge, agambye nti mu kitundu kyabwe, abawala abangi abato beyongedde obungi ssaako n’abakyala bannakyeyombekedde, abatambula obudde obw’ekiro.

Mungeri y’emu agambye nti bangi ku bo, tebakola, nga bewunya engeri gye bafuna ensimbi okwebezaawo.

Ate Kafunda Juma, agamba nti bangi ku baana abawala, benyigidde mu kwetunda n’okukyangakyanga abasajja, ekiyinza okuvaako embeera okusajjuka.

James Mubi

Wabula James Mubi, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kiira – Jinja agamba nti okunoonyereza kulaze nti Anjo, abadde mutuuzi w’akaboozi e Bugembe mu kibuga kye Jinja.

Wadde omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Jinja okwekebejjebwa, Anjo kitegerekese nti yava mu disitulikiti y’e Moyo.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=os9VIK5TdOA