Kyaddaki ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era omukulembeze w’eggwanga lino Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni awadde ezimu ku nsonga lwaki yali agaanye bodaboda okuddamu okukola ekiro.

Wakati mu kulwanyisa Covid-19 mu ggwanga lino Uganda, Pulezidenti Museveni yaggala ebyenfuna byonna mu ggwanga omuli eby’obusuubuzi, amassomero, Yunivasite, ebyentambula ssaako n’ebintu ebirala.

Nga tuyingira omwaka 2022, Pulezidenti Museveni yaggulawo ebyenfuna byonna kyokka bodaboda zibadde tezikkirizibwa kutambula wakati w’essaawa 7:00PM (ez’ekiro) – 5:30AM (ez’okumakya).

Wabula akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Museveni bwe yabadde ku lunnaku lw’amaggye olwa ‘Tarehe Sita’ ku kisaawe kye Malukhu mu kibuga kye Mbale, yakkirizza bodaboda okuddamu okukola emirimu ekiro kyonna n’okutandiika olunnaku olwaleero nga 7, Febwali, 2022.

Mu bigambo bye, Pulezidenti Museveni yagambye nti wadde mu bodaboda mulimu abazzi b’emisango omuli ababbi, abatemu, badde ku mirimu naye abakyamu Gavumenti egenda kubalwanyisa.

Pulezidenti Museveni era agambye nti Gavumenti erina pulaani okulwanyisa abantu abakyamu bonna abasukkiridde okweyambisa Pikipiki okutigomya abantu.

Agamba nti buli kidduka omuli Pikipiki ne Bodaboda, balina okweyambisa tekinologiya wa GPS, okulondoola ebiduuka.

Museveni bodaboda

Muzeeyi Museveni mu ngeri y’emu agumizza bannayuganda ku nsonga y’ebyokwerinda era agambye nti bodaboda okuddamu okukola obudde obw’ekiro, Gavumenti egenda kukola kyonna ekisoboka okuzuula abakyamu aberimbika mu Bodaboda.

Ku mukolo gwa ‘Tarehe Sita’, Minisita w’ensonga z’ebyokwerinda Vincent Ssempijja, agambye nti obukulembeze bwa Pulezidenti Museveni ku nsonga y’ebyokwerinda, kiyambye nnyo okulakulanya bannansi ne ggwanga lyonna.

Kinnajjukirwa nti wiiki ewedde, aba bodaboda omuli aba Safe Boda, bavaayo nga bakulembeddwamu Ricky Rapa Thomson ne basaba Pulezidenti Museveni okuggyawo Kafyu ku bodaboda.

Ricky Rapa yategeeza nti abantu abali mu bodaboda basukka mu bukadde 10 nga mu kiseera kino, ebyenfuna byabwe byongedde okudobonkana, ekivudde abakyala okunoba.

Mu Uganda, abantu bangi battiddwa era abatemu baludde nga beyambisa Pikipiki mu kutambuza obutemu bwabwe.
Abatemu abaakola obulumbaganyi ku Minisita w’ebyenguudo n’entambula Gen Edward Katumba Wamala nga 1, Ogwomukaaga, 2021, baali ku Pikipiki.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=b-Ri89oSqI0