Kyaddaki Poliisi y’e Mbarara evuddeyo ku mukyala alabikira mu katambi ng’ebitongole ebikuuma ddembe, bimukwata mu ngeri y’okutyoboola ekitiibwa kye.
Okusinzira ku katambi, omukyala yabadde atudde wansi okumpi n’emmotoka ekika kya ‘Drone’ era yabadde agamba nti tayinza kuyingira mmotoka nga waliwo banaabwe abatulugunyizibwa.
Omukyala era agamba nti okuvaayo okutaasa abantu be abaakwattiddwa y’emu ku nsonga lwaki yakwattiddwa nga talina musango.
Wadde yabadde alemedde ku ttaka, abasirikale baasobodde okweyambisa amaanyi era yasituddwa nga omugugu okuva ku ttaka ne bamuteeka mu mmotoka wakati mu maziga.

Omukyala ono, ebitongole ebikuuma ddembe byamututte ng’ali mu maziga olw’embeera gye yakwatiddwamu era vidiyo eri mu kutambula ku mikutu migatta bantu omuli Face Book ne WhatsApp.
Poliisi eyogedde!
Omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Rwizi, Samson Kasasira, agamba nti omukyala ono ye Komuhendo Anisha.
Kasasira agamba nti Komuhendo mutuuze we Ntebbe mu disitulikiti y’e Wakiso era yakwattiddwa mu kibuga kye Mbarara mu bitundu bye Boma.

Okusinzira ku Poliisi, Komuhendo yabadde agenze kukyalira banne babiri (2) abaakwatiddwa ku misango gy’okutambuza ebicupuli bya ssente mu bitundu bya Greater Ankole ne Kigezi.
Kasasira agamba nti Komuhendo ateeberezebwa okwenyigira mu kutambuza ebicupuli bya ssente era y’emu ku nsonga lwaki yakwatiddwa, okuyambako mu kunoonyereza.
Okutyoboola eddembe lye!
Kasasira agamba nti okusinzira ku ngeri gye yakwattiddwa ekitongole ky’amaggye ekya Uganda Peoples Defence Forces (UPDF), okunoonyereza kutandikiddewo.
Agamba nti okunoonyereza kugenda kukolebwa UPDF.
Vidiyo!