Omubbi awonye okufa!

Omusajja Muwanga Edward ali mu gy’obukulu 40 asimatuse okuttibwa abatuuze, bw’akubiddwa ku misango gy’okubba emmotoka.

Muwanga nga mutuuze mu Tawuni Kanso y’e Kyengera mu disitulikiti y’e Wakiso, bamukutte yakaba emmotoka ekika kya Noah namba UAU 672U okumpi n’essomero lya Kampala Parents, akawungeezi ka leero.

Emmotoka ebadde etwalibwa

Emmotoka bagizingiza era omubbi Muwanga akubiddwa abatuuze omuli amayinja, emiggo, ensambaggere era Poliisi wetuukidde okutaasa, ng’abatuuze balemeddeko okumutta.

Omu ku batuuze akubye Muwanga omuggo ku bitundu by’ekyama era akubye omulanga wakati mu kutonnya amaziga.

Luke Owoyesigyire, amyuka omwogezi wa Poliisi mu Kampala n’emirirwano, agamba nti Muwanga atwaliddwa ku Poliisi y’e Kira ku misango gy’okubba.

Ebisumuluzo by’emmotoka

Owoyesigyire mungeri y’emu agambye nti omubbi Muwanga asangiddwa n’ebisumuluzo ebyenjawulo.

Ate Poliisi mu bitundu bye Kiira ekutte abantu basatu (3) abagambibwa nti bakkondo, abaludde nga batigomya abatuuze mu kitundu ekyo.

Mu kikwekweeto ekikoleddwa Poliisi n’amaggye, abakwate kuliko Opio John Stephen, Tigatola Sadat ssaako n’omusirikale Owamaani Cleophus.

Abakwate basangiddwa n’ebintu ebyenjawulo era omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, James Mubi agamba nti ebintu kuliko emmundu satu (3) amasasi 44, ekiso, akambe, giravuzi, Pikipiki 4 ssaako n’emmotoka gye baludde nga bakozesa okutambula nga bagenda okubba.

Pikipiki kuliko  UEW 612H, UEY 234S, UFC 398S ne UEU 904K ssaako n’emmotoka ekika kya Toyota Mark 11 UAQ 644N.

James Mubi

Poliisi egamba nti abakwate baludde nga benyigira mu kubba okuva October, 2020.

Mubi agamba nti Poliisi okukwata munnamaggye wa UPDF L/CPL Nabinoli John Anton okuva ku kitebe ky’amaggye ekya Gaddafi e Jinja, y’emu ku nsonga lwaki basobodde okukwata akabondo k’ababbi.

Mu kiseera kino Mubi asabye abatuuze okuyambagana okunoonya ababbi bonna bakwattibwe.

Mubi mungeri y’emu alabudde abasirikale okukomya okwenyigira mu bintu byonna ebiyinza okumenya amateeka kuba tewali muntu yenna gwe bagenda kuttira ku liiso.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=rmhWCHXrAv8&t=12s