Kkooti ensukulumu eragidde obukulembeze bwonna obwa Crane Bbanka budizibwe omugagga Sudhir Ruparelia.

Ensala esomeddwa enkya ya leero, kkooti bw’ebadde egoba, okujjulira kwa Bbanka ya Uganda enkulu ku by’okuloopa Sudhir Ruparelia ne Kampuni ye eya Meera Investments Ltd.

Bbanka ya Uganda enkulu, yatwala Sudhir mu kkooti ne Kampuni ya Meera Investments Ltd ku by’okuviirako ssente okufa, Biriyoni 397 ezaali mu Crane Bank.

Mu nsala ya kkooti kkooti ensukulumu esomeddwa omuwandiisi wa kkooti Mary Babirye ku lwa balamuzi bataano (5) okuli Opio Aweri, Faith Mwondha, Lillian Tibatemwa, Ezekiel Muhanguzi ne Percy Night Tuhaise, bonna balagidde obukulembeze bwa Crane Bbanka okuddayo eri Sudhir Ruparelia.

Mu 2016 bbanka enkulu yaggala Crane Bbanka era waayita ebbanga ttono ne bagitunda eri DFCU, amangu ddala ne batwala Sudhir mu kkooti.

Bbanka ya DFCU yagula  Crane bbanka n’amatabi gaayo gonna  kyokka kkampuni ya Meera investments netwala DFCU mu kkooti nga egamba nti amatabi yagatwala mu bukyamu kubanga tegaali wansi wa Bbanka  wadde okubeera mu mannya gaayo wabula amatabi gonna  gaali ga Meera investments.

Mu kkooti, Sudhir abadde awakanya ekya bbanka enkulu okutunda Crane Bank ssaako n’okutwala ebyapa byayo 48.

Bbanka enkulu yaddukira mu kkooti ensukkulumu  ng’ewakanya okusalawo kwa kkooti y’ebyobusuubuzi ssaako ne kkooti ejjulirwamu,  ku by’okutunda Crane bank eri DFCU mbu kyakolebwa mu ngeri emenya amateeka.

Wabula abalamuzi bataano aba kkooti ensukulumu bonna bakaanyiza n’okujjulira kwa Sudhir ku by’okutunda bbanka ye eri DFCU mu ngeri emenya amateeka.