Omuyimbi Sheebah Kalungi ayongedde okulaga nti ddala muyimbi alina talenti wadde talina manejja mu kiseera kino.
Omwezi oguwedde, Sheebah yafuna obutakaanya n’eyali manejja we Jeff Kiwa era kati buli omu akola bibye.
Jeff Kiwa, yafuna dda omuyimbi omulala Rahmah Pinky okudda mu kifo kya Sheebah.

Pinky mu kiseera kino alina ennyimba ez’enjawulo omuli Superstar era kigambibwa Jeff Kiwa agenda kumweyambisa okulwanyisa Sheebah mu kisaawe ky’okuyimba.
Wabula ne Sheebah ayongedde okulaga nti ddala naye tanyigirwa mu ttooke.
Mu kusooka, Sheebah yafulumya oluyimba lw’eddiini ‘Mukama Yamba’ oluvanyuma lw’okwawukana ne Jeff Kiwa.
Sheebah y’omu aleese oluyimba olulala nga lwa mukwano ‘Nkwata Bulungi’.
Mu kiseera kino ali ku vidiyo era agamba nti ku lunnaku lwa baagalana ku Mmande nga 14, Febwali, 2022, agenda kufulumya vidiyo y’oluyimba lwe.
Sheebah asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okulaga ekitundu ku kyasi kya vidiyo y’oluyimba ‘Nkwata Bulungi’
Vidiyo!