Abatamu abatamanyiddwa nga bali Pikipiki, basse ab’oluganda babiri (2) mu katawuni k’e Wairaka mu Tawuni Kanso y’e Kakira mu disitulikiti y’e Jinja.

Fred Bulago ne John Nkabe battiddwa ku luguudo lwe Iganga-Jinja akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga.

Kigambibwa abatemu 4 bazze nga beefudde abateega ssente ku Mobile Money kwe kulumba ab’oluganda Bulago ne Nkabe, abaludde nga bakola nga ba Agenti ba Mobile Money mu Katawuni k’e Wairaka.

Ababbi oluvanyuma lw’okubba ssente ezitamanyiddwa muwendo, Bulago ne Nkabe baakubiddwa amasasi.

Omu ku batuuze agaanye okwatuukiriza amannya ge, agambye nti abatemu bazze nga bonna bayambadde masiki eza bulaaka n’ebikofiira ku mitwe, okubuzabuza endabika yaabwe.

Mungeri y’emu agambye nti, oluvanyuma lw’okubba ssente, baakubye amasasi 2 mu bbanga okugumbulula abatuuze oluvanyuma ne batta ab’oluganda.

Okudduka, baasobodde okweyambisa Pikipiki ezaabadde zibalinze.

Nelson Kitanda, akulira ebyokwerinda ku kyalo, agambye nti mu bbanga lya myaka 2, guno mulundi gwa 12 ng’ababbi batta abatuuze oluvanyuma lw’okubba n’okusingira ddala aba Mobile Money.

Karim Igumba, omu ku batuuze awanjagidde ebitongole byokwerinda okwongera ku nsonga y’ebyokwerinda n’okusingira ddala okulawuna, kiyambeko okutangira embeera y’obubbi.

Kinnajjukirwa nti ku Lwokubiri nga 9, Febwali, 2022, Poliisi mu bitundu bye Kiira yakutte abantu basatu (3) abagambibwa nti bakkondo, abaludde nga batigomya abatuuze mu kitundu ekyo.

Mu kikwekweeto ekyakoleddwa Poliisi n’amaggye, abakwate kuliko Opio John Stephen, Tigatola Sadat ssaako n’omusirikale Owamaani Cleophus.

Abakwate basangiddwa n’ebintu ebyenjawulo era omwogezi wa Poliisi mu kitundu ekyo, James Mubi agamba nti ebintu kuliko emmundu satu (3) amasasi 44, ekiso, akambe, giravuzi, Pikipiki 4 ssaako n’emmotoka gye baludde nga bakozesa okutambula nga bagenda okubba.

Pikipiki kuliko  UEW 612H, UEY 234S, UFC 398S ne UEU 904K ssaako n’emmotoka ekika kya Toyota Mark 11 UAQ 644N.

Mubi yagambye nti abakwate baludde nga benyigira mu kubba okuva October, 2020.

Mubi agamba nti Poliisi okukwata munnamaggye wa UPDF L/CPL Nabinoli John Anton okuva ku kitebe ky’amaggye ekya Gaddafi e Jinja, y’emu ku nsonga lwaki basobodde okukwata akabondo k’ababbi.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=BqttbQ-HnTs