Poliisi mu bitundu bye Mityana etandiise okunoonyereza ku misango gy’okutta omusuubuzi Muwonge William myaka 25 abadde omutuunzi w’engatto era omutuuze ku kyalo Kansuleti “A” mu ggoombolola y’e Busimbi mu disitulikiti y’e Mityana.

Omusuubuzi Muwonge yattiddwa nga 11, Febwali, 2022 ku ssaawa nga 4 ez’ekiro nga yafumitiddwa ekintu ekitamanyiddwa, ekigambibwa okuba ekiso.

Okunoonyereza kulaga nti omusuubuzi Muwonge yabadde ava wa nnyina Bukirwa Florence okulya ekyeggulo okudda awaka okwebaka, abantu abatamanyiddwa kwe kumuteega mu kkubo ne bamufumita ne bamutta.

Amangu ddala Poliisi yayitiddwa okwekebejja omulambo era omulambo gwasindikiddwa mu ddwaaliro ekkulu e Mityana okufuna alipoota y’abasawo.

Asp Kawala Racheal, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Wamala agamba nti Poliisi ekutte omuntu omu, okuyambako mu kunoonyereza.

Kawala asabye abatuuze abalina amawulire, okuyamba ku Poliisi, okusobola okuzuula abatemu.

Ate Poliisi y’e Kakumiro ekutte abantu 4 ku by’okutta Alex Rutesereka myaka 45 abadde omutuuze mu katawuni k’e Kasozi mu ggoombolola y’e Kitaihuka.

Abakwate wadde Poliisi egaanye okwatuukiriza amannya gabwe nga kiyinza okutaataganya okunoonyereza, baakwatiddwa akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano ku by’okutta Rutesereka.

Rutesereka yakubiddwa nnyo ku mutwe ne ffeesi, ekyavuddeko okufa kwe.

Shwekyerera Karwemera, ssentebe w’ekyalo Kasozi, agambye nti omugenzi abadde muntu wa bantu era mbu yaliko ne mikwano gye mu bbaala ekiro ku Lwokuna.

Omulambo gwe gwazuuliddwa ku Lwokutaano ku makya mu kitaba ky’omusaayi.

Acleo Tusiime, ssentebe LC III mu ggoombolola y’e Kitaihuka, awanjagidde ekitongole kya Poliisi okwanguyiriza okunoonyereza, okuzuula abatemu.

Helloth Karacha, akulira okunoonyereza ku kitebe kya Poliisi e Kakumiro, agambye nti omulambo gwatwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kakumiro, okufuna alipoota y’abasawo ku nfa ya Rutesereka.

Karacha agamba nti Rutesereka yafudde olw’omusaayi omungi ogwamuvuddemu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=0hAsJ0NKAJk