Mutabani w’omukulembeze w’eggwanga lino Yoweri Kaguta Museveni, Lt Gen Muhoozi Kainerugaba alaze lwaki Uganda yetaaga olutalo wakati wa Uganda ne Rwanda ku bakazi.
Lt Gen Muhoozi mu kiseera kino ye muddumizi w’amagye g’oku ttaka era agamba nti olutalo lwokka lwe yetaaga wakati wa Uganda ne Rwanda, kwe kuteekawo empaka ku Uganda ne Rwanda ani asinga abakyala abalungi.
Muhoozi agamba nti empaka zisobola okubaawo buli mwaka, abawanguzi ne bafuna ebirabo ebyenjawulo, “The only war we want between Uganda and Rwanda is a battle between our women to decide who is the most beautiful! We should have that competition annually. With prizes“.
Ebigambo bya Muhoozi byongedde olutalo lw’ebigambo ku mukutu ogwa ‘Twitter’, ekivuddeko abantu okuleeta abakyala ab’enjawulo ku Twitter.
Abamu bagamba nti Rwanda erina abakyala abalungi bangi nnyo ate abamu bagamba nti Uganda yesiinga abakyala abalungi.
Mungeri y’emu Muhoozi era asobodde okweyambisa Twitter, okutegeeza abantu nti mukyala we Charlotte Kainerugaba ye mukyala asobola okuyamba Uganda okuwangula empaka, “Gentlemen and ladies I can see the battle really heating up. That’s okay. @RugyendoQuotes and @rufagari will tell us the winners but just for the sake of clarity my winner is always my wife Charlotte Kainerugaba“.

Wadde olutalo lubadde kunoonya omukyala omulungi wakati wa Uganda ne Rwanda, waliwo abasobodde okukyusa emboozi ne babiyingizaamu ebyobufuzi.
Abamu bagambye nti mukyala wa Muhoozi, Charlotte Kainerugaba ye mukyala wa Pulezidenti agenda okuddako ate alabika bulungi nnyo, “Our next First Lady, Mama Charlotte Kainerugaba is a beautiful lady. God bless her“.
Waliwo abagambye nti, “She is precious, elegant and the most beautiful lady in the World. Thank you Mama Charlotte the incoming First Lady for taking good care of incoming Fountain of Honour”.
Ate Sharangabo agambye nti, “General they are all beautiful our sisters..I can’t actually differentiate them..Bahimakazi are just angels looking..I may just forget and start talking to them in Kinyarwanda“.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=b-Ri89oSqI0&t=9064s