Omuyimbi Lydia Jazmine alaze nti ku mulundi guno, agenda kweyambisa amazina, okutumbula n’okutunda oluyimba lwe Tonkozesa.

Mu kiseera kino Jazmine y’omu ku bakyala abakola obulungi mu kisaawe ky’okuyimba.
Ekisooka akyali muwala muto, ali mu myaka 30, ayimba bulungi, alabika bulungi, ekyongera okusikiriza abawagizi.

Jazmine alina oluyimba ‘Tonkozesa’ era ku mulundi guno alaga nti agenda kweyambisa amazina okutunda oluyimba lwe.

Lydia Jazmine

Asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram, okuteekayo vidiyo ng’ali n’abawala abalala bazina oluyimba Tonkozesa.
Jazmine asabye abawagizi be okuddamu okuzina amazina gegamu, nga wakuteeka vidiyo zaabwe ku Instagram ye.

Vidiyo ya Jazmine