Kyaddaki Poliisi erabudde bannayuganda okukomya okuddukira ku Poliisi zaabwe nga baloopa emisango egikwata ku bwenzi.

Okusinzira ku mwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, Poliisi eyongedde okufuna emisango egy’enjawulo ng’omusajja oba omukyala akwatidde bba oba mukyala we mu bwenzi.

Enanga ng’asinzira ku kitebe kya Poliisi e Naguru enkya ya leero, agambye nti obwenzi si musango.

Enanga agamba nti singa omusajja oba omukyala akwata muganzi we ng’ali mu bwenzi, balina kweyambisa abakulembeze ku byalo omuli bassentebe b’ebyalo, abakulembeze b’eddiini, abakulembeze b’ebika, okutwala ensonga mu kkooti oba omukulembeze yenna ayinza okuyamba okugonjoola ensonga.

Agamba nti ensonga y’obwenzi si musango era tesobola kusibisa muntu yenna.

Wabula Enanga agamba nti ebitongole ebikuuma ddembe okuyingira mu nsonga z’obwenzi, singa mubaamu ebikolwa eby’okutta omuntu oba okutwalira amateeka mu ngalo nga mulimu okwonoona ebintu.

Eddoboozi lya Enanga

Enanga mu ngeri y’emu alabudde abantu okukomya okukwata vidiyo z’abakwate nga bali mu bwenzi.
Agamba ekyo kimenya amateeka era abaludde nga bakikola, balina okukikomya bunnambiro.

Ate Poliisi mu kibuga kye Mbale ekutte asikaali okuva mu kitongole ky’obwannanyini ekikuumi ekya Alpha Security Services limited ku misango gy’okutta omuyizi ku Busitema University akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku Ssande.
Kidasa yasse Kelly Tumusiime myaka 20, abadde omutuuze we Mivule cell mu ggoombolola y’e Namatala mu kibuga kye Mbale.
Tumusiime abadde asoma diguli mu busawo.
Okusinzira ku Poliisi, Kidasa yasse Tumusiime ku bigambibwa nti yabadde amuteebereza okuba omubbi, okumukuba amasasi.
Kidasa oluvanyuma lw’okutta Tumusiime, yasobodde okutwala emmundu ye ku offiisi ku Tuni Hardware mu kibuga Mbale, oluvanyuma yadduse.
Rogers Taitika, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Elgon, agambye nti Tumusiime yafudde bakamutuusa mu ddwaaliro ekkulu e Mbale.
Taitika agamba nti asikaali Kidasa, akwattiddwa wadde abadde aliira ku nsiko ku misango gy’okutta omuntu era atwaliddwa ku kitebe kyabwe e Mbale.
Kidasa okutta Tumusiime, yasobodde okweyambisa emmundu SAR12121698 era musangiddwamu amasasi 7.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=kFgjay7POjU