Kyaddaki omuyimbi Rema Namakula alaze lwaki ye ne bba Dr. Hamzah Ssebunya balina okujjaguza olunnaku lwa Valentayini.
Rema agamba nti yafuna olubuto lw’omwana waabwe Aaliyah ku lunnaku lwa Valentayini.
Agamba nti olunnaku olwaleero, bali mu kujjaguza okuweza omwaka bukya bba Hamzah ateeba ggoolo mu katimba.
Rema asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga ekifaananyi ng’ali ku buliri ne bba, okubotola ekyama era agambye nti, “Today is special to us(sebunyaz) not because its valentine’s but lwelunaku zaddy lweyateeba goal bwe paaaaaaaaππππππ
Nkyentegeeza nti lwelunaku omupiila bwe gwayingila mu katimba bwe tuuuuuπππππ
Ye Aaliyah oyo gwemulabakoπ
Nolwekyo ffe tuli ku #omupiilamukaatimba Anniversary π€£π€£π€£π€£π€£π€£
Wabula Namakula ππππππ”.
Leero nga 14, Febwali, 2022, Rema ayongedde ebinonogo mu lunnaku luno olwa baagalana kuba asobodde okweyambisa omukutu gwe ogwa U-tube, okusanyusa abawagizi be.
Asobodde okuyimba oluyimba lwe ‘Akaffekye’ mu ngeri ey’enjawulo.
Rema ne Hamzah balina omwana omu, Aaliyah kyokka Rema alina omwana owokubiri gwe yazaala mu Eddy Kenzo eyali bba.
Kigambibwa nti Hamzah naye alina abaana abalala wabula tewali bukakafu.