Kyaddaki Palamenti ekkiriza omubaka wa Kampala Central Muhammad Nsereko agende mu luwumula, okutekateeka enoongosereza mu bbago erya ‘The Computer Misuse Amendment Bill 2022’, erigendereddwamu okukangavula abantu abegumbulidde okweyambisa emikutu migatta abantu mu ngeri emenya amateeka.
Mu Palamenti akawungeezi ka leero, ebadde ekubirizibwa amyuka sipiika Anita Among, Nsereko, agambye nti abantu basukkiridde okweyambisa emikutu migatta abantu okuwebuula abantu mu ggwanga omuli abakulembeze, okuvuma, okuwemula, okutisatiisa, okuvvoola, nga betaaga etteeka, okwongera okulambika abantu abeyambisa emikutu egyo ssaako n’okubazaamu empisa.

Mungeri y’emu agambye nti waliwo n’abantu abayita mu kusoomozebwa omuli okutawanyizibwa ku bwongo, nga kivudde ku bitambuzibwa ku mikutu migatta abantu omuli Face Book, Twitter, WhatsApp, U-tube n’emirala nga byonna bya bulimba n’okusiiga enziro.
Nsereko mu ngeri y’emu agambye nti obutakaanya ku nsonga yonna, tekiwa bbeetu muntu yenna, kulumbagana munne wadde mu tteeka, abantu baakusigaza eddembe lyabwe eryokwogera.
Mungeri y’emu anokoddeyo, eky’abantu abasukkiridde okweyambisa omukutu gwa U-tube nga banoga ensimbi naye nga vidiyo zebateekayo, tebalina bujjulizi, bafa kimu kunoonya balabi n’okufuna ensimbi.
Ensonga za Nsereko, y’emu ku nsonga lwaki Palamenti emukkiriza, agende mu luwumula okutekateeka enoongosereza, zebetaaga okulambika emikutu migatta bantu.