Omusajja awunze oluvanyuma lw’okusanga muganzi we ali mu laavu n’omusajja omulala ku lunnaku lwa Valentayini.
Buli nga 14, Ogwokubiri, lunnaku lwa baagalana mu nsi yonna era okutwalira omwagalwa ebimuli, kabonero akalaga nti ddala ali ku mutima gwo.
Kati no olunnaku olweggulo ku Mmande, waliwo omusajja eyatwalidde muganzi we ebimuli kyokka yamukutte ali mu kaboozi n’omusajja omulala.

Okusinzira ku vidiyo eri mu kutambula ku mikutu migatta bantu n’okusingira ddala ogwa WhatsApp, omusajja yasobodde okupangisa owa ggita, okutwalira muganzi we omukwano gwe bimuli ng’awerekeddwaako akayimba.
Wabula ng’omusajja omulala yenna, yatuuse mu kisenge ky’omuwala, ng’ali n’omusajja omulala, ekyavuddeko okulwanagana.
Wadde vidiyo eyongedde okutambula ku mikutu migatta bantu, kizibu okumanya oba yavudde mu ggwanga ki.
Olunnaku olw’eggulo, omwogezi wa Poliisi mu ggwanga Fred Enanga, yagambye nti obwenzi si musango era abantu balina okukomya okuddumira ku Poliisi zaabwe nga banoonya obwenkanya ku nsonga z’okwenda.
Vidiyo!