Dr Kazimba avuddeyo!

Ekkanisa, ewanjagidde Pulezidenti  Yoweri Kaguta Museveni okuteeka mu nkola ekiragiro kye, ku bantu bonna abegumbulidde okutulugunya abantu mu ggwanga lino.

Okusinzira ku Ssaabalabirizi w’ekanisa ya Uganda Dr.Steven Kazimba Mugalu, kiswaza abantu okuggyeemera ekiragiro kya Pulezidenti ku nsonga y’okutulugunya abantu n’okutyoboola eddembe lyabwe.

Dr. Kazimba bw’abadde ku mikolo gy’okujjukira Janani Luwum, eyaliko Ssaabalabirizi wa Uganda, ku mikolo egibadde mu kisaawe e Kololo, eyattibwa ku mulembe gwa Idi Amin Dada mu 1977, agambye nti, kano kekaseera, abantu bonna abenyigidde mu kutulugunya abantu, okusimbibwa mu mbuga z’amateeka.

Dr. Kazimba

Mungeri y’emu ajjukiza Pulezidenti Museveni, nti singa ebikolwa ng’ebyo bisigalawo omuli n’okutta abantu, tekikola makkulu, okutekateeka emikolo gy’okujjukira Janani Luwum, eyali eddoboozi lya buli muntu.

Eddoboozi lya Dr. Kazimba

Dr. Kazimba, mu ngeri y’emu ajjukiza Pulezidenti Museveni okwongera amaanyi mu kulwanyisa obuli bw’enguzi, okutangira ku bantu abegumbulidde okubba ensimbi z’eggwanga, okukusibwa kw’abannayuganda n’okugibwamu ebitundu by’omubiri eby’enjawulo.

Ate Pulezidenti Museveni agambye nti olunnaku nga luno, bannayuganda balina okulweyambisa okujjukira effuga bi lya Idi Amin Dada ssaako n’obwanakyemalira.

Museveni asobodde okweyambisa omumyuka we, munnamaggye eyaganyuka Maj. Jessica Rose Alupo, okusoma obubaka bwe.

Omugenzi Luwum

Mungeri y’emu agambye nti ng’akyali mu ntebe ng’omukulembeze w’eggwanga lino, tewali muntu yenna ayinza, kutabangula ggwanga wadde abatujju omuli abakanja ka Allied Democratic Forces (ADF).

Museveni ajjukiza bannayuganda nti amaggye, gali bulindala ku nsonga y’ebyokwerinda.

Olunnaku luno, olwa 16, buli gwa kubiri, lwatekebwawo Pulezidenti Museveni, era nga lwa tandiika mu 2015.

Janani Luwum wadde yattibwa emyaka 45 egiyise, yali Ssaabalabirizi wansi ssatu okuli Uganda, Rwanda ne Burundi.

Bannayuganda bangi  bajjukira Ssaabalabirizi  nga omusajja eyali munnaddiini omukuukuutivu ennyo ate nga ayagaliza buli muntu  okuba obulungi.

Pulezidenti Amin ne Luwum

Luwum yafuna obwa ssaabadinkoni  mu 1953 kyoka mu mwaka ogwadako nafuuka priest.

Mu 1969 yafuuka Bishop mu mambuka ga Uganda e Gulu ( Nothern Uganda) era nga awo weyava nafuuka ssaabalabirizi w’e nzikiriza za makanisa gabakulisitaayo(Church of Uganda Arch Bishop) okuva mu 1974 okutuusa mu 1977 weyafiira.

Olw’okwagala okungi kweyalina eri abantu be, Luwum teyasirikanga bweyalaba nga  engeri gavumentu ya Idi Amini (1971) gye yatulugunyangamu abantu ssaako n’okubabuzangawo mungeri etamanyibwa ngako mayitire, n’olw’ensonga eyo ono, okwemulugunyakwe yakuyisa mu kiwandiiko ekyatwalibwa eri eyali omukulembeze w’eggwanga mukaseera ako ekigambibwa okuba nga kyekyamuvirako okugenda okutiibwa.

Oluvanyuma lw’ekiwandiiko eri Pulezidenti Amin,  mangu ddala  Ssaabalabirizi yasomerwa omusango ogw’okulya mu nsi ye olukwe.

Okusinziira ku gavumenti ya Amin, nga beyambisa omukutu gwa Radio Uganda (mu kiseera kino UBC) baayisa ekirango nti Luwum yafunye akabenje mu mmotaoka ye, bweyatomeraganye nendala nti kwe kwava ensibuko y’okufa kwe.

Kyoka ate okusinziira ku batuuze abaaliwo mu kaseera ako, bagamba nti okufa kwe kwandiba nga lwali lukwe lwa gavumenti ya Amin kubanga yaalinga nkola ye okubuzzangawo ssaako n’okusaannyawo abo beeyalabanga nga bamulemesa okutambuza eggwanga.

Oluvanyuma Ssaabalabirizi Luwum yatwalibwa okuziikibwa mu disitulikiti y’e Kitgum.

Luwum yazaalibwa ku kyalo Wii Gweng mu Kitgum era yattibwa nga 16/ Febwali/1977 ku biragiro bya Idi Amin.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=l0zd25D2KbU