Eyali Ssaabaminisita wa Uganda John Patrick Amama Mbabazi avuddeyo ku nsonga y’okutulugunya abantu okweyongedde mu ggwanga.
Mbabazi ng’asinzira mu makaage e Kololo, agambye nti kikyamu nnyo okutulugunya omuntu yenna mu ggwanga lino.
Agamba nti okutulugunya abantu mu ggwanga, si nkola ya National Resistance Movement (NRM), ekibiina ekiri mu buyinza era si y’emu ku nsonga lwaki bageenda mu nsiko.
Mbabazi agamba nti okutulugunya omuntu yenna, kimenya amateeka wadde kyakolebwa nnyo ku mulembe gwa Idi Amin Dada wakati wa 1971 – 1979.
Mu kiseera kino Mbabazi yagudde mu bintu nga yalondeddwa nga ssentebe w’ekitongole kya Africa Global Security Organisation ekyatongozeddwa nga 13-February mu Senegal.
Ekitongole kirimu amawanga omuli Uganda, Senegal, Democratic Republic of the Congo, Congo-Brazzaville, Togo ne Mauritania.
Agamba nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni yamusaba okutwala ekifo ekyo kuba musajja alina obumanyirivu ku nsonga ez’enjawulo.

Ekitongole kigenda kuyamba nnyo okunoonya ebizibu ebisinga okusomooza Africa ngeri gye bayinza okubirwanyisa.