Poliisi mu ggwanga erya Ghana ekutte omusajja ku misango gy’okwagala okutta omuwala muganzi we.
Omusajja myaka 54 yakwattiddwa ku misango gy’okuyiira abantu Asidi, okuli omuwala muganzi we, ali mu gy’obukulu 18 ssaako ne nnyina.
Kigambibwa, omusajja oluvanyuma lw’okusinda omukwano n’omuwala, yafulumiza vidiyo ku mikutu migatta abantu ng’ali mu kikolwa.
Omuwala yavudde mu mbeera, olw’omusajja okutambuza vidiyo ze nga bali mu kwesa mpiki, era amangu ddala nnyina yasobodde okumuyambako, okutwala omusango ku Poliisi.

Nga batuuse ku Poliisi, omusajja yakwattiddwa ne bamutwala mu kkooti, kwe kumusaba ssente 2,000 eze Ghana nga mu za Uganda 1,099,377.
Wabula omusajja olw’obutaagala kuwa ssente, kwe kulumba famire awaka, muganzi we ne nnyina kwe kubayiira Asidi.
Mu kiseera kino omuwala ne nnyina bali mu ddwaaliro erya Komfo Anokye hospital nga Asidi yabakutte ku mikono, ffesi, amabbeere, nakulukuta wansi mu bitundu bye kyama.
Poliisi ezzeemu nekwata omusajja ku misango gy’okwagala okutta abantu era essaawa yonna bamuzaayo mu kkooti.
Okunoonyereza kutandiise lwaki omusajja omukulu, ku myaka 54 yenyigidde mu kutambuza vidiyo ng’ali n’omuwala omuto mu kaboozi.
Ate mu Uganda, entiisa ebuutikidde abatuuze mu disitulikiti y’e Kanungu, omusajja bw’asaze abaana babiri (2) obulago ne bafiirawo.
Abaana abattiddwa kuliko Tracy Nabasa myaka 8 ne Ian Owembabazi myaka 3 nga bonna baana ba Kato Frank, omutuuze ku kyalo Kagarama mu ggoombolola y’e Kambuga.
Abaana bonna battiddwa akawungeezi ka leero ku ssaawa nga 10 nga neyiba yaabwe Edward Birungi ali mu myaka 40, asobodde okweyambisa ejjambiya okubasala.
Okusinzira ku ssentebe w’ekyalo Augustine Mutabazi, Birungi abadde alumiriza Frank okusigula mukyala we, eyanobye wiiki 2 ezakayita era y’emu ku nsonga lwaki amuttidde abaana be.

Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi, agambye nti mu kiseera kino, omutemu Birungi aliira ku nsiko nga n’emirambo gitwaliddwa mu ddwaaliro ekkulu e Kambuga okwekebejjebwa.
Maate agamba mungeri y’emu agambye nti ekyalo kyonna kivuddeyo okuyambako Poliisi mu kunoonya omutemu Birungi, bamutwala mu kkooti.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=wfvO1HFeRTc