Omusajja munnansi wa Ghana abadde agezaako okwetta oluvanyuma lw’okukuba mukyala we Doris Amoah, 21 amasasi.

Charles Soglo myaka 31 agamba nti mukyala we yagaanye okusinda omukwano, okumala ennaku 2 era y’emu ku nsonga lwaki abadde agezaako okumutta.

Wadde omukyala Amoah asimatuse okufa ne bamutwala mu ddwaaliro lya Gavumenti erya Edubiase, omusajja yekubye essasi ku mukono era engalo 2 zikutuseeko ssaako ne ku kifuba.

Mu kiseera kino omusajja n’omukyala batwaliddwa mu ddwaaliro wadde omusajja aguddwako emisango gy’okwagala okutta omuntu.

Takyi Adansi, adduumira Poliisi mu disitulikiti y’e Fomena, agambye nti okunoonyereza ku nsonga ezo, kutandikiddewo.

Adansi agamba nti omusajja Soglo agamba nti mukyala we abadde yafuna omusajja omulala era mbu y’emu ku nsonga lwaki abadde tayagala kwegatta.

Ate okudda mu Uganda, esannyu libuutikidde famire za Baloodi Kansala b’ekitongole ki Kampala Capital City Authority (KCCA) basatu (3) abakedde okuyimbulwa, okuva ku limanda mu kkomera e Kitalya.

Ku Mmande nga 14, Febwali, 2022, omulamuzi wa kkooti ku Buganda Road Sanula Nambozo, ku bakansala 9 abaali basigadde ku limanda mu kkomera e Kitalya, yayimbulako 6, 3 ne bazibwa ku limanda nga kivudde ku biwandiiko byabwe ebisaba okweyimirirwa, obutakwatagana.

Enkya ya leero, Bakansala okuli Richard Ssembatya, Charles Mpindi, Morshin Kakande, baziddwa mu kkooti ng’ebiwandiiko byabwe byaterezeddwa era omulamuzi Naboozo, bonna abakkiriza okweyimirirwa.

Balagiddwa okudda mu kkooti, nga 16, omwezi ogujja Ogwokusatu, 2022.

Bakansala baakwattibwa nga 3, omwezi guno Ogwokubiri, 2022 ku luguudo lwa Allen Road mu Kampala nga bagezaako, okulambula enguudo z’omu Kampala ze basuubira okuwa abatembeyi, okuddamu okutambuza emirimu gyabwe okusinga okubasindikiriza okuva mu Kampala.

14 bebaakwattibwa, nga bonna baweddeyo mu kkomera olw’omulamuzi Namboozo okuyimbula abasatu (3), abazibwa ku limanda ku Mmande ya sabiiti eno ku Mmande.

Wabula munnamateeka waabwe omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, agamba nti wadde Bakansala babasiba mu ngeri y’okubatiisatiisa ku nsonga za Kampala, ensonga y’abatembeyi tebagenda kugivaako.

Lukwago agamba nti balina ensonga ez’enjawulo omuli eza Takisi era tewali muntu yenna ayinza kubalemesa.