Kyaddaki Kansala Charles Mutebi, akiikirira abalonzi mu ggoombolola y’e Kalungu akwattiddwa ku misango gy’okusobya ku mwana myaka 14.
Omu ku basirikale agaanye okwatuukiriza amannya ge, agambye nti Mutebi yakwattiddwa olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga okuva mu disitulikiti y’e Mubende gy’abadde yekwese emyezi egisukka 5.
Oluvanyuma lw’okukwatibwa, Mutebi yatwaliddwa ku kitebe ky’ekitongole ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya Special Investigations Unit-SIU mu bitundu bye Kireka mu Kampala.

Baptista Ddungu, okuva mu famire y’omwana eyasobezebwako, agamba nti bafunye okutegeezebwa okuva mu bitongole ebikuuma ddembe mu Kampala nti Mutebi yakwatiddwa.
John Kalema, Kansala w’eggoombolola y’e Lwabenge musanyufu nnyo olwa Kansala Mutebi okukwatibwa. Agamba nti Mutebi okusobya ku mwana omuto, kikolwa kikyamu ekityoboola ekitiibwa kyabwe nga Bakansala.
Poliisi egamba nti Kansala Mutebi yatuma omwana mu nnyumba okuleeta ebbakuli okufuna eby’okulya kyokka omwana yali yakayingira munda, Kansala Mutebi kwekuyingira mu nnyumba, kwe kumusobyako.
Omwana agamba nti Kansala Mutebi kirabika yamukuba kalifoomu kuba yagenda okudda engulu, ng’avaamu omusaayi mu bitundu by’ekyama, okumuluma nga tali mu mpale.
Omwana agamba nti Kansala Mutebi yamusuubiza okumutta singa ategezaako omuntu yenna.
Omwana yatwalibwa mu ddwaaliro era abasawo bategeeza nti kituufu omwana yasobezebwako.