Ekimotoka ky’amafuta kikutte omuliro mu ssaza lye Ogun mu ggwanga erya Nigeria, era abantu 14 kati z’embuyaga ezikunta ate bangi banyiga biwundu.
Okusinzira ku batuuze, ekimotoka ky’amafuta kyetomedde ne bbaasi ku luguudo lwe Lagos – Ibada, ekivuddeko omuliro.
Abamu ku baafudde, bafuuse vvu ate abali mu ddwaaliro, bali mu mbeera mbi.
Mu kiseera kino Poliisi evuddeyo okunoonyereza okuzuula ekituufu, ekyavuddeko akabenje ku lunnaku Lwokutaano.
Nigeria y’emu ku nsi mu Africa, ezisinga okufuna obubenje bw’oku nguudo n’okusingira ddala ku bimotoka ebitambuza amafuta.
Alipoota za Poliisi ziraga nti okuvugisa ekimama y’emu ku nsonga lwaki obubenje bweyongedde.
Omuvubuka myaka 19 awonye okuttibwa abatuuze bw’akwattiddwa ku misango gy’okubba Laadiyo mu ggwanga erya Kenya.
Collins Sambaya nga mutuuze ku kyalo Chamasili mu ggoombolola y’e Sabatia, yakomereddwa Elvis Irime ku muti n’emisumaali mu bibatu by’engalo, akawungeezi k’olunnaku Olwokutaano.

Omu ku bakulembeze ku kyalo Evans Endesha, yakubidde Poliisi essimu era weyatuukidde ng’omuvubuka Sambaya ali mu maziga.
Oluvanyuma lwa Poliisi okutuuka akawungeezi k’olunnaku olwokutaano, Elvis Irime yadduse era mu kiseera kino aliira ku nsiko.
Sambaya yatwaliddwa mu ddwaaliro lya Mbale County Referral Hospital okufuna obujanjabi.
Okusinzira ku kiwandiiko okuva mu offiisi y’omuwaabi wa Gavumenti, Poliisi eri mu kunoonya Elvis Irime okuvunaanibwa.
Poliisi egamba nti wadde Sambaya ayinza okuba nga yenyigidde mu kubba, tewali muntu yenna akkirizibwa kutwalira mateeka mu ngalo.
Ate kkooti mu ggwanga erya Tanzania mu kibuga Dar es Salaam egambye nti Freeman Mbowe, omukulembeze w’oludda oluvuganya alina okwewozaako mu kkooti ku misango gy’okulya mu nsi olukwe.
Mbowe yakwattibwa mu Gwomusanvu, 2021 n’abamu ku bakulembeze abalala mu kibiina kya Chadema nga bagezaako okukuba olukungana okubanja enkyukakyuka mu sseemateeka wa Uganda.

Mbowe myaka 60 kigambibwa abadde awagira ebikolwa eby’ekitujju era mu kkooti alina okwewozaako.
Agamba nti ebbanga ly’amaze mu kkomera, atulugunyiziddwa nga yetaaga okufuna obujanjabi.
Wabula aba Chadema bagamba nti obwanakyemalira bwa Pulezidenti Samia Suluhu Hassan, y’emu ku nsonga lwaki Mbowe ali mu kkomera.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=bXD_R87x514