Omukyala Zari Hassan ayongedde okulaga nti obulungi bw’omukyala yenna, kwefaako.
Zari mukyala muzadde era mbu mu kiseera kino alina emyaka 41.
Alina abaana abamanyiddwa okuli Zuleha Hassan, Abdul Karim Hassan, Asha Hassan, Zara Hassan, Latifah Dangote ne Prince Nillan.

Laba Work wa Zari

Yazaala abaana mu mugenzi Ivan Ssemwanga ssaako n’omuyimbi Diamond Platnumz myaka 32 munnansi wa Tanzania kyokka mu kiseera kino mbu alina omusajja omulala.
Ku myaka 41, abamu bagamba nti Zari mukyala akuliridde era yandibadde yesonyiwa okulaga nga bwe yakula ku mikutu migatta bantu n’okusingira ddala ogwa Instagram.

Laba omubiri gwa Zari

Zari asobodde okweyambisa omukutu ogwa Instagram okulaga nti akyali mbooko era asabbalaza abamu ku basajja.
Mungeri y’okulaga nti ddala alina work, asobodde okulaga ebifaananyi okulaga sikiiru y’okunyeenya ekiwato ng’aguliko omuziki.