Abamu ku baloodi Kansala mu lukiiko lwa Kampala Capital City Authority (KCCA), bekandazze ne bafuluma olukiiko nga bawakanya, zebayize nkwe z’omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago ku nsonga z’okuteekerateekera ekibuga Kampala.

Baloodi Kansala okuli Winnie Nansubuga, Mosh Ssendi amanyikiddwa nga Mr Mosh, Faista Bitaano, Kigozi Rose Nalubwama n’abalala, okwekandaga, kivudde ku muloodi Ssalongo Erias Lukwago, okutegeeza olukiiko bateese ku nsonga ya Ppaaka enkadde.

Mu lukiiko, Lukwago ayanjudde okusika omuguwa okuli mu ppaaka enkadde ng’ayagala ensonga bagiteseeko, oluvanyuma olukiiko lukkirize, abagagga 11 abalina Poloti zaabwe mu ppaaka enkadde, basasule, okusinga okudda mu kusika omuguwa n’abali mulimu gwa Takisi.

Wabula bakansala bagaanye okuteesa ku nsonga ye nga bagamba nti omuloodi Ssalongo Erias Lukwago, asukkiridde okubakozesa okuyisaawo ebintu bye.

Bakansala, bagamba nti kiswaza nti ppaaka enkadde, bakamala okusasaanya biriyoni eziri 12 okugirongoosa kyokka mu kiseera kino, abagagga batandiise okugikayanira.

Balemeddeko nti betaaga okumanya ebikwata ku bagagga bonna abalina Poloti mu ppaaka enkadde, engeri gye bazifuna ssaako n’okuteeka mu nkola ebiteeso byonna, ebizze biyisibwa omuli ensonga y’abatembeyi okuweebwa enguudo mu Kampala, okuddamu okutambuza emirimu gyabwe.

Oluvanyuma lw’okufuluma, omusasi waffe Nalule Aminah awayizaamuko nabo.

Eddoboozi lya Bakansala

Wadde Bakansala bekandaze, olukiiko lukaanyiza, nti buli mugagga eyagula Poloti mu Ppaaka enkadde, teri kusasulwa wadde 100.

Bye Nalule Aminah