Gavumenti mu ggwanga erya Tanzania egumiza bannansi okusigala nga bakakamu ku nsonga ya Data.
Bangi ku bannansi baludde nga bemulugunya ku ngeri Data waabwe gyaddukamu, ekyongedde okulemesa bangi, okutambulizaako emirimu gyabwe n’okulemesa abayizi okugyeyambisa mu kusoma.
Bannansi bagamba nti Kampuni z’amassimu zisukkiridde okubba ssente zaabwe eza Data nga tewali abagambako.
Wabula ekitongole ekivunaanyizibwa ku byempuliziganya mu ggwanga erya Tanzania, ekya Tanzania’s Communications Regulatory Authority (TCRA) kigambibwa nti baliko App gye bali mu kuzimba, nga buli munnansi asobola okutegeera engeri Data we gyakozesebwamu.
Okusinzira ku ssenkulu w’ekitongole ekyo Emmanuel Manase, bannansi balina okutandiika okweyambisa App yabwe obutasukka mwezi ogujja Ogwokusatu, 2022.
Mungeri y’emu alagidde Kampuni z’amassimu zonna mu ggwanga okutekateeka okufuna engeri Bakasitoma gye basobola okwekeneenya engeri gye bakozesa Data waabwe okusinga okusigala nga bemulugunya.
Wano mu Africa, bangi ku bannansi mawanga agenjawulo, bayongedde okwemulugunya ku nsonga ya Data mu nsi zaabwe engeri gyatwalibwamu Kampuni z’amassimu.