Okuleeta abajjulizi kutandiise mu kkooti ya Buganda Road, okulumiriza Muhammad Ssegirinya omubaka we Kawempe North ku misango gy’okukuma omuliro mu bantu nga yeyambibwa omukutu mugatta bantu ogwa Face Book.
Ssegirinya ali ku misango egyo ku bigambibwa nti, yategeeza nti singa omuntu yenna yenyigira mu kutta Pulezidenti w’ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine), ekinabaawo mu ggwanga Uganda, kigenda kubisaamu emirundi 40 kwebyo ebyali mu ggwanga erya Rwanda mu 1994 mu kitta bantu ekyaliyo.

Wadde Ssegirinya yegaana emisango, basobodde okumusiimba mu kkooti ng’asinzira mu kkomera e Kigo gye yasindikibwa ku misango egy’enjawulo omuli ekitta abantu ekyali e Masaka, omwafiira abasukka 20 wakati w’omwezi Ogwomusanvu n’Ogwomunaana, 2021 ng’emisango agiriko n’omubaka we Makindye West Allan Ssewanyana ssaako n’abantu abalala 4 nga bonna bali ku limanda.
Mu maaso g’omulamuzi Sieena Owomugisha, oludda oluwaabi basobodde okutegeeza kkooti nti balina abajjulizi babiri (2).
Ku bajjulizi abaleeteddwa Juliet Naiga myaka 40, munnamawulire ku UBC, yasoose okuwa obujjulizi era agamba nti yeyavunula ebigambo bya Ssegirinya okuva mu Luganda okudda mu Luzungu mu Katambi nga ne mu kkooti, vidiyo ezanyiddwa.

Omujjulizi owokubiri, Wantamba Moses, musajja musirikale kyokka ye alagiddwa okudda mu kkooti, nga 22, omwezi ogujja Ogwokusatu okuwa obujjulizi bwe.
Ssegirinya akiikiriddwa bannamateeka be okuli omubaka omukyala owa Kampala Malende Shamim ne Asuman Basalirwa, omubaka wa Monicipaali y’e Bugiri.
Mu kkooti, Ssegirinya wadde abadde ku nkola ya Zoom, asabye omulamuzi okumukkiriza naye okuggya mu kkooti okubaawo 22, omwezi ogujja Ogwokusatu, olwa yintanenti okuvavaako mu kiseera, eky’okuwuliriza omusango gwe.
Oluvudde mu kkooti, munnamateeka Malende agamba nti engeri omujjulizi Naiga gy’abadde addamu ebibuuzo, balina esuubi ery’okuwangula omusango.

Ate omusasi waffe Nakaayi Rashidah awayizaamuko n’omujjulizi omusirikale Wantamba, era agamba nti tayinza kutya, okutegeeza kkooti, amazima ku musango.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=r3Q0AdmuvGM