Omukulembeze w’eggwanga erya Russia Vladimir Putin alabudde ensi eziri mu kumutisatiisa ku by’okulumba eggwanga erya Ukraine.

Bangi ku bannansi mu ggwanga erya Ukraine bayongedde okudduka mu ggwanga, kigambibwa obulumbaganyi obukoleddwa mu nnaku ezitasukka 2, abantu abasukka mu 100 battiddwa omuli bannamaggye n’abantu babuligyo ate bangi banyiga biwundu.

Kiri mu Ukraine

Russia eyongedde okusindika eby’okulwanyisa okubiyingira Ukraine omuli Ttanka enwanyi ssaako n’okweyambisa ennyonyi enwanyi wamu ne bakomando abatendeke obulungi.

Wabula omu ku bakiise ba Palamenti mu ggwanga erya Ukraine Lesia Vasylenko, awanjagidde ensi mikwano gyabwe okuvaayo okubayamba, okutaasa obungi bw’abantu aboolekedde okuttibwa singa Russia eyongera okulumba eggwanga lyabwe.

Okutaasa mu kibuga Kyiv

Nga busasaana enkya ya leero, Russia ekoze obulumbaganyi mu kibuga Kyiv era waliwo ennyonyi yaabwe ekubiddwa amaggye ga Ukraine kyokka ekyembi, bw’ebedda egwa, ekubye kalina ya myaliro 9 nekwata omuliro, omusula abantu babuligyo.

Omuwendo gw’abantu abafudde n’abakoseddwa, tegumanyiddwa mu kiseera kino.

Wadde embeera eyongedde okusajjuka, Putin ekyagaanye okuyimiriza obulumbaganyi kwe kulabula amawanga, agali mu kumutisatisa.

Ekizimbe ekikubiddwa

Russia okulumba Ukraine ne Africa, egenda kweyongera okosebwa n’ensi yonna okutwaliza awamu.

Abakugu bagamba nti amafuta g’ebiduuka gagenda kweyongera okulinnya, ngano, ekiyinza okuvaako Chapatti, emigaati, ebikomando okulinnya ebbeeyi.

Mu nsi yonna Russia, y’emu ku nsi ezikwata akati mu kusindika amafuta ku katale k’ensi yonna ate ne Ukraine mu kulima engano, y’emu ku zikwata ekisooka.

Ate Gavumenti mu ggwanga erya Tanzania egumiza bannansi okusigala nga bakakamu ku nsonga ya Data.

Bangi ku bannansi baludde nga bemulugunya ku ngeri Data waabwe gyaddukamu, ekyongedde okulemesa bangi, okutambulizaako emirimu gyabwe n’okulemesa abayizi okugyeyambisa mu kusoma.
Bannansi bagamba nti Kampuni z’amassimu zisukkiridde okubba ssente zaabwe eza Data nga tewali abagambako.

Wabula ekitongole ekivunaanyizibwa ku byempuliziganya mu ggwanga erya Tanzania, ekya Tanzania’s Communications Regulatory Authority (TCRA) kigambibwa nti baliko App gye bali mu kuzimba, nga buli munnansi asobola okutegeera engeri Data we gyakozesebwamu.
Okusinzira ku ssenkulu w’ekitongole ekyo Emmanuel Manase, bannansi balina okutandiika okweyambisa App yabwe obutasukka mwezi ogujja Ogwokusatu, 2022.

Mungeri y’emu alagidde Kampuni z’amassimu zonna mu ggwanga okutekateeka okufuna engeri Bakasitoma gye basobola okwekeneenya engeri gye bakozesa Data waabwe okusinga okusigala nga bemulugunya.
Wano mu Africa, bangi ku bannansi mawanga agenjawulo, bayongedde okwemulugunya ku nsonga ya Data mu nsi zaabwe engeri gyatwalibwamu Kampuni z’amassimu.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=TdP5IofQMQs&t=623s