Poliisi mu disitulikiti y’e Rukungiri ekutte ssentebe w’ekyalo ku misango gy’okusobya ku mwana omuto myaka 4.
Julius Kashumbusha myaka 45 yakwattiddwa, ssentebe w’ekyalo Kagorogoro mu ggoombolola y’e Nyakagyeme mu disitulikiti y’e Rukungiri.
Kigambibwa olunnaku olw’eggulo ku Lwomukaaga nga 26, Febwali, 2022 ku ssaawa nga 4 ez’okumakya, omwana yalabiddwako ng’afuluma edduuka lya Kashumbusha ne ccupa y’eby’okunywa ebya ‘Kabiriti’.
Tumubwine Bruce myaka 28 taata w’omwana ne mukyala we, bagamba nti omwana yavudde mu dduka ng’atambula awenyera, okumwekebejje kwe kuzuula amazzi g’ekisajja mu bitundu by’ekyama ne ku lugoye.
Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi agamba nti oluvanyuma abazadde batemeza ku batuuze, Ssentebe Kashumbusha ne bamukwata ne bamutwala ku Poliisi y’e Nyakagyeme.
Maate agamba nti mu kiseera kino Ssentebe Kashumbusha ali ku kitebe kya Poliisi e Rukungiri ku misango gy’okusobya ku mwana omuto.
Ate Poliisi y’e Kanungu etandiise okunoonyereza ku ngeri abantu basatu gye batiddwamu.
Abattiddwa kuliko Twijukye Diliano myaka 40 abadde omutuuze ku kyalo Kenyange cell e Nyarurambi mu ggoombolola y’e Nyamirama nga yattiddwa abatuuze.
Omuntu omulala ye Lewonia Kabasharira myaka 61 nga naye abadde mutuuze ku kyalo kye kimu ne Kabagambe Jovinai myaka 3 era ku kyalo kye kimu.
Kigambibwa akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo, Twijukye Diliano kati omugenzi yafunye ekizibu ku mutwe era amangu ddala yakutte ejjambiya kwe kutte nnyina Kabasharira n’omwana Jovinai myaka 3.
Oluvanyuma lw’okutte nnyina n’omwana, abatuuze naye baamusse.
Elly Maate, omwogezi wa Poliisi mu bitundu bye Kigezi agamba nti Poliisi etandiise okunoonyereza ku ttemu eryo.
Poliisi ekutte maama ku misango gy’okwagala okutta abaana be, mbu baludde nga bamulemesa okusinda obulungi omukwano.
Faridah Babirye myaka 47 yakwattiddwa Poliisi y’e Nakiwogo mu Monicipaali y’e Ntebbe mu disitulikiti y’e Wakiso, oluvanyuma lw’okusuula abaana be babiri (2), mu nnyanya Nalubaale emanyikiddwa nga Lake Victoria okubatta.
Babirye, abadde ku lyato n’abasabaze abalala okuva ku kizinga Nakiwogo okudda e Buwaya mu Tawuni Kanso y’e Kasanje kyokka watuuse wakati mu nnyanja, asudde abaana mu nnyanja okuli myaka 2 n’omwaka gumu okwagala okubatta.
Wabula abasabaze basobodde okutaasa abaana ne batwalibwa mu ddwaaliro e Nakiwogo, okufuna obujanjabi.
Ku Poliisi e Nakiwogo, Babirye agambye nti ye mutuuze we Mutundwe mu Tawuni Kanso y’e Katabi.
Agamba nti talina musajja ng’abadde akooye okutoba, okunoonya ssente z’okuliisa abaana ssaako n’okubalabirira.
Mungeri y’emu agambye nti olw’abaana, n’abasajja abayinza okumugambako, bayongedde okwesala ate singa afunayo omusajja, abaana bakaaba nnyo mu ngeri y’okumulemesa okusinda obulungi omukwano n’omusajja okusobola okudda ng’asiimye.
Poliisi egamba nti omukyala aguddwako emisango gy’okwagala okutta abantu era okunoonyereza kutandikiddewo.
Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=SO_t5JBHGnQ