Poliisi ekutte maama ku misango gy’okwagala okutta abaana be, mbu baludde nga bamulemesa okusinda obulungi omukwano.
Faridah Babirye myaka 47 yakwattiddwa Poliisi y’e Nakiwogo mu Monicipaali y’e Ntebbe mu disitulikiti y’e Wakiso, oluvanyuma lw’okusuula abaana be babiri (2), mu nnyanya Nalubaale emanyikiddwa nga Lake Victoria okubatta.
Babirye, abadde ku lyato n’abasabaze abalala okuva ku kizinga Nakiwogo okudda e Buwaya mu Tawuni Kanso y’e Kasanje kyokka watuuse wakati mu nnyanja, asudde abaana mu nnyanja okuli myaka 2 n’omwaka gumu okwagala okubatta.
Wabula abasabaze basobodde okutaasa abaana ne batwalibwa mu ddwaaliro e Nakiwogo, okufuna obujanjabi.
Ku Poliisi e Nakiwogo, Babirye agambye nti ye mutuuze we Mutundwe mu Tawuni Kanso y’e Katabi.
Agamba nti talina musajja ng’abadde akooye okutoba, okunoonya ssente z’okuliisa abaana ssaako n’okubalabirira.
Mungeri y’emu agambye nti olw’abaana, n’abasajja abayinza okumugambako, bayongedde okwesala ate singa afunayo omusajja, abaana bakaaba nnyo mu ngeri y’okumulemesa okusinda obulungi omukwano n’omusajja okusobola okudda ng’asiimye.
Poliisi egamba nti omukyala aguddwako emisango gy’okwagala okutta abantu era okunoonyereza kutandikiddewo.