Omuwandiisi w’ebitabo Kakwenza Rukirabashaija alaze nti y’omu ku bantu abasanyufu mu kiseera kino oluvanyuma lw’okudduka mu ggwanga Uganda.

Yali yakwatibwa ku misango gy’okuvuma ssentebe w’ekibiina ki National Resistance Movement (NRM) era Pulezidenti wa Uganda Yoweri Kaguta Museveni ne mutabani we omuddumizi w’eggye ery’oku ttaka Lt-General Muhoozi Kainerugaba.

Wabula Kakwenza agamba nti mu kiseera ng’ali mu mikono gy’ebitongole ebikuuma ddembe, yatulugunyizibwa kyokka bwe yali mu kkooti ya Buganda Road, omulamuzi Douglas Singiza yagaana okusaba kwa Kakwenza, okumukkiriza okugenda ebweru w’eggwanga okufuna obujanjuabi.

Oluvanyuma yadduka mu ggwanga era mu kiseera kino ali mu ggwanga erya Germany. Kigambibwa okudduka, yasobola okweyambisa ensalo y’e ggwanga erya Rwanda.

Olunnaku olw’eggulo, waliwo vidiyo eyabadde eri mu kutambula ku mikutu migatta bantu nga Kakwenza ali mu ssanyu n’eyali omusomesa ku Yunivasite e Makerere Dr. Stella Nyanzi.

Mu vidiyo, Dr. Stella Nyanzi yabadde ayambako Kakwenza okumusiiga ebizigo okusobola okuddamu okufuna olususu lwe.
Mu kutulugunyizibwa, olususu lwonna lwali lwafa era mu kiseera kino agezaako okweyambisa ebizigo, okuddamu okunyirira.
Dr. Stella Nyanzi mu kusiiga ebizigo, agamba nti Kakwenza mutabani we era y’emu ku nsonga lwaki yasobodde okutambuza emikono okusiiga ebithambi byonna.

Dr. Stella Nyanzi ku misuwa


Mungeri y’emu yagambye nti Kakwenza okuba mutabani we, yatambuza omukono okutuusa okumpi n’ebitundu by’ekyama mu ngeri y’okusomooza.

Kakwenza okuvuma Pulezidenti Museveni ne Lt-General Muhoozi Kainerugaba, yasobola okweyambisa omukutu ogwa Twitter era yakwatibwa nga 28, Desemba, 2021.
Ate Dr Stella Nyanzi naye yakwatibwako ku nsonga z’okunyiiza Pulezidenti Museveni.
Mu kiseera kino Palamenti yavuddeyo okuleeta etteeka ku ngeri y’okweyambisa emikutu migatta bantu omuli Face Book, Twitter, You-Tube, Instagram, WhatsApp n’emirala.

Palamenti egamba nti bakooye abantu okweyambisa ‘Social Media’ okuvuma abakulembeze oba omuntu yenna, okutambuza obulimba, okuvvoola abantu nga etteeka ligenda kuyamba nnyo okuzza abantu mu layini.

Palamenti yawadde omubaka wa Kampala Central Muhammad Nsereko olukusa okuleeta enoongosereza ku tteeka lya Social Media era mu kiseera kino Nsereko ali mu kwebuuza ku bantu.

Vidiyo!

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=SO_t5JBHGnQ