Poliisi y’e Bukomansimbi eri mu kunoonyereza ku kyavudde omusajja okuttibwa ku mbaga, ekirese abatuuze nga bali mu kiyongobero.

Entiisa abadde ku kyalo Kyetume-Katoma mu ggoombolola y’e Kibinge mu disitulikiti y’e Bukomansimbi, ewa ssentebe w’ekyalo.

Okunoonyereza kulaga nti omusajja ategerekeseeko erya Kibirige yafunye obutakaanya n’ekibinja ky’abavubuka nga waliwo omukyala, eyabatabudde nga buli omu agamba nti muganzi we, ekyavuddeko okulwanagana.

Abatuuze agamba nti wadde okulwanagana kwabaddewo akawungeezi k’olunnaku olw’eggulo ku mbaga, ssentebe w’ekyalo Joseph Musanje Sserwadda akedde kuzuula omusajja eyattiddwa emanju w’enju ye.

Olw’okutya, ssentebe Sserwadda akubye enduulu esombodde abatuuze era amangu ddala ne Poliisi eyitiddwa.

Abatuuze nga bakulembeddwamu Jimmy Walugembe, bawanjagidde Poliisi okunoonyereza okuzuula abantu abatuufu, abenyigidde mu kutwalira amateeka mu ngalo.

Poliisi okuva e Bukomansimbi eyitiddwa era omulambo gutwaliddwa mu ddwaaliro okwekebejjebwa.

Nigeria eyongedde amaanyi mu kutaasa abayizi, abali mu ggwanga erya Ukraine, abasobeddwa olw’emmundu eyongedde okuseka mu ggwanga eryo.

Okuva wiiki ewedde, ddukadduka yeyongedde mu ggwanga erya Ukraine olwa Russia okukikolako obulumbaganyi.

Mu kiseera kino, bangi ku bannansi bayongedde okudduka eggwanga lyabwe erya, okunoonya ensi, gye bayinza okufunira ku mirembe.

Mu mbeera eyo, Nigeria, yakataasa bannansi abasukka 200 n’okusingira ddala abayizi, okuva mu Ukraine okubatwala mu Romania.

Okusinzira ku Ambasadda wa Nigeria mu Romania Safiya Nuhu, abantu batuuse bulungi ddala era basula mu Hotero mu kiseera kino.

Ambasadda Safiya era agamba nti bannansi ba Nigeria bangi abali mu Ukraine era entekateeka z’okubataasa, zigenda mu maaso.

Bannansi b’e Nigeria mu Ukraine

Ate Minisitule y’ensonga z’ebweru w’eggwanga mu Nigeria, erabudde bannansi bonna abakyali mu Ukraine okweyambisa ensalo ya Hungary ne Romania nga Poland eriko obuzibu.

Minisita w’ensonga z’ebweru mu Nigeria Geofrey Onyeama agamba nti ayogedde ne minisita munne owa Ukraine Dmytro Kuleba okukkiriza abagwira abali mu ggwanga lyabwe okufuluma eggwanga wadde tebalina biwandiiko mu kiseera kino.

Mu kiseera kino ensi ez’enjawulo omuli Germany, Bufalansa, Bungereza n’endala zisuubiza okwongera okuyamba Ukraine nga basindika eby’okulwanyisa ebiyinza okuyambako mu kwetaasa ku jjoogo lya Russia.

Ebirala ebifa mu ggwanga – https://www.youtube.com/watch?v=s0q8O1i3HOY